
SINKANA Brenda Sekabembe alina emyaka 42 nga ye mutandisi wa kkampuni ekola keeki eya Bake for Me esangibwa mu Bbunga mu munisipaali ya Makindye.
Sekabembe mutuuze w'e Bbunga mu munisipaali ya Makindye era bba ye Robert Mulema.
Azaalibwa omwami Barnabas Sekabembe n'omukyaala Dr. Beatrice Sekabembe abatuuze e Bbunga.
Yasomerera bya mmere era alina diguli mu tekinologiya w'ebyemmere (Food Science and Technology) okuva mu Yunivasite e Makerere.
Natandika okukola keeki nga nsaba mikwano gyange egindi okumpi okubakolerayo keeke nga era nasooka kukola keeki ya 10,000/- . Oluvannyuma nneewola 25,000/- okuva ku taata nsobole okukola keeki bbiri mikwano gyange ze gyali gyagala. Leero bizinensi yange ebalirirwamu bukadde na bukadde.
BY'AFUNYE MU BIZINENSI
Nguzeemu emmotoka 7 ezinnyamba okuddukanya emirimu ate ne kinnyongera ne mu nnyingiza.
Nzimbyemu amaka e Bbunga, nzimbyemu essomero erisomesa abaana ebintu ebikwatagana ku kukola keeki nabo ne basobola okufuluma ate ne bakola ssente.
Kati nnina amatabi 5 omuli e Bbunga, Kololo, Nakulabye, Kajjansi nga kw'otadde ne Gayaza.