EBY'EMMOTOKA ya Bobi Wine bijjulidde kkooti erina okuyisa ekiragiro ekiwaliriza nnannyini yo okugizzaayo mu kitongole ekiwooza ky'omusolo ekya URA eddemu ebalirirwe buto.
Kino kijjidde wakati mu nkalu ezeeyongedde ku mmotoka eno nga n'abooludda lwa Bobi bataddewo emiziziko okuziyiza URA okugitwala.
Kyaddiridde bannamateeka ba Kyagulanyi aba Wameli and Company Advocates okugaana okuwaayo emmotoka nga bwe baabadde basabiddwa kamisona wa URA avunaanyizibwa ku bintu ebiyingira n'okufuluma eggwanga.
Ensonda zaategeezezza nti abakulu mu URA bamaze okukola entegeka ezeekubira enduulu mu kkooti eyise ekiragiro ekiwaliriza Kyagulanyi okuwaayo emmotoka. Baagala kulaba nga bafuna olukusa olubakkiriza okugikima ku kifuba bw'abeera agaanye eby'eddembe.
Emmotoka eno ey'ekika kya Toyota Land Cruiser V8 nnamba UBJ 667F egambibwa nti teyitamu masasi y'efuuse nattabula n'okwebuuza engeri gye yayingiramu
mu ggwanga.
Bannamateeka balumiriza nti Robert Kyagulanyi yatuukiriza ebisaanyizo byonna n'esasula omusolo gwa 88,612,027. Kyokka aba URA bagamba nti omusolo ogwagibalirirwa guli wansi nnyo ku ze yalina okusasula.
E Magere ewali emmotoka nawo bongeddewo emiziziko era eggulo twasanze weesimbye yeebulunguluddwa emmotoka endala mukaaga. Kigambibwa nti kino baakikoze okuzibuwaliza omuntu yenna alowooza nti asobola okujja n'agisika okugiggyayo.
Joel Ssenyonyi omwogezi wa NUP yagambye nti bo balinga nkoko njeru era bakimanyi nti balina ababalondoola nga y'ensonga lwaki baagoberera emitendera gyonna.
"Abaagala tuzzeeyo emmotoka babitaddemu ebyobufuzi n'okwagala okuyigganya omukulembeze waffe. Kyokka ffe ensonga twazirekedde bannamateeka baffe bazikolako" Ssenyonyi bwe yagambye.
Emmotoka eno yayita ku nsalo ya Uganda ne Kenya era yajjira ku ttaka ng'eriko nnamba za Kenya, KCY 550X era nnamba ya "Logbook" y'emmotoka ng'eri
K3323207K era Fauz yasooka kusasula omusolo gw'okugivugira ku nguudo za Uganda.
Aba URA beebuuza ku ba Interpol era nga January 6, 2021 ne baweereza ebbaluwa eraga nti emmotoka terina buzibu era URA n'ekolera ku bbaluwa eno okukkiriza
empapula ezaaweebwayo Fauz. Empapula zaakolwako nga January 8, 2021 era ne ziyisibwa nga January 12, 2021.
Fauz bwe yafuna empapula ezirambika obwannannyini bw'emmotoka eno era ng'afunye n'ennamba yaayo, yateekayo empapula endala ezikyusa obwannannyini, ng'emmotoka eva mu mannya ga Fauz Khalid ng'edda mu mannya ga Robert Kyagulanyi Ssentamu.
Oluvannyuma emmotoka yatwalibwa ewa Kyagulanyi era n'agyanjulira abawagizi be nga February 21, 2021.
Monday, March 1, 2021
Enkalu zeeyongedde ku mmotoka ya Kyagulanyi empya
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...