KKWIINI Elizabeth II ayagala kkeeki erimu ekirungo kya ‘chocolate' wabula okusinziira ku biragiro by'abasawo waakiri agirya omulundi gumu ku mazaalibwa ge agabeerawo buli nga April 22.
Omufumbi wa Kkwiini Darren McGrady eyamufumbira okuva 1982 okutuuka 1993 annyonnyola nti; nga tonnamuwa kyakulya asooka kufa ku mbwa ze n'embalaasi.
Endya ennungi tekitegeeza kulya bintu bingi, Kkwiini asobola okufuna kumpi buli kyakulya ky'ayagala wabula omufumbi we akugamba nti, yeefuga nnyo mu byokulya.
Talya kintu kubanga weekiri wabula alya ekyo ky'ateekeddwa okulya.
Olunaku alya ku mmere ya mirundi etaano gye bateeka ku mmeeza ye ate bw'amaliriza emmere n'anywerako eggiraasi ya ‘Ice Cream'.
Emirundi gy'abeerawo nga talidde na bagenyi naddala ekyeggulo, alya ekyennyanja ekikalirire ekitaliiko butto nga kiriko enva endiirwa ne saladi kyokka yagaana okumuteekerako obummonde oba emmere endala erimu ekirungo ekya ‘sitaaci'.
Omufumbi Darren agamba nti Kkwiini alyako asobole okubeerawo wabula tabeerawo lwa kulya era bw'otuuka mu ffumbiro lye temubeeramu byakwejalabya by'atalya.
Agamba nti ekika ky'emmere gy'ofumba okulya si kye kikulu wabula mw'ogifumbira akifaako nnyo. Mu Lubiri ng'olw'e Buckingam, osangayo ensaka ez'edda eziriko ne sitampu za Kkwiini Victoria n'esseffuliya ez'edda nga bakyazifumbiramu kubanga zisobola okukuuma emmere ye mu ngeri ey'obutonde. Kigambibwa nti ensaka ekika kino za myaka gya 1800.
Olumu nababuuza nti bannange temwagala kugulayo ne sseffuliya mpya? Banyannukula kimu nti "nedda ssebo, twetaaga okusonda ssente z'okulabirira embalaasi zaffe n'okuzigulira engatto", McGrady bw'annyonnyola.
Ayagala nnyo okulya emmere n'enva eziva mu nnimiro ze, olumu alya enva endiirwa eziva mu nnimiro ye nga tebagiguze kuva mu bifo by'atamanyi. Enva ezimu endiirwa bazirima munda mu lubiri ng'olw'e Buckingham ne Windsor by'asinga okuwoomerwa.
Darren agamba nti Kkwiini awoomerwa nnyo ka ‘cokoleti' naddala akakwafu, tayagala nnyo mweru era amata tagafaako nnyo. Anywamu ku mwenge ogwefanaanyiriza ka waragi akagonzeemu ne ka wine (German sweet wine) akamanyiddwa nga ‘Dubonnet'
Olunaku afuna eby'okunywa eby'enjawulo kyokka tanywa bitamiiza mu ssaawa ez'enkya.
Ng'oggyeko emmere gy'alya, akola dduyiro mu ngeri ey'enjawulo kubanga ku myaka 92 yali avuga embalaasi oba okutambula nga yeetoloola mu nnimiro eziri ku Lubiri ng'ali n'embwa ze.
Ate bba, Philip yeeyisa mu ngeri ya kijaasi, Darren anyumya nti olumu yagenda mu ffumbiro ng'obudde bwa kawungeezi n'abuuza ekyokulya ekiriyo. Bwe yaggulawo ffiriigi nga mulimu ennyama y'endiga n'abuuza nti tetuyinza kufuna kw'eyo?
Ennyama ekika kino etera nnyo okuliibwa abaserikale ab'eggye ery'empingu ate mutabani waabwe Charles, ye takomba ku bisiike era bagamba nti kirabika yawera okusiika ebyokulya bye nga tannaba kuzaalibwa.
(Emboozi eno omufumbi yaginyumiza omukutu gwa CNN mu 2017).
Tuesday, March 2, 2021
Omufumbi wa Kkwiini ayogedde emmere gy'asinga okuwoomerwa
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...