Eyali ssita wa ManU, Gary Neville alangidde Liverpool okukona n'etessaawo kuvuganya ku Premier, gye yawangula sizoni ewedde.
Mu ngeri y'emu ‘alagudde' nti, "K'etonnye oba kagwake gutya, Liverpool teyinza kumalira mu Top 4." Yagambye nti Man City, ManU, Chelsea ne Leicester ze zigenda okumalira mu bifo 4 ebisooka nga Liverpool esobola kyakutaano oba kyamukaaga.
Man City y'ekulembedde Premier n'obubonero 67, ManU 56, Leicester 56 ate Chelsea 51 sso nga Liverpool eri mu kyamunaana ku 43. Neville, eyaliko kapiteeni wa ManU, yakizzeemu nti, "Liverpool etuswazizza nnyo. Kyampiyoni okulebera bwatyo kiraga nti yakona."
Yayongeddeko nti, "Klopp n'abazannyi be bwe baatwala Premier oluvannyuma lw'emyaka 30, baalowooza nti batuuse mu ggulu. Mu kifo ky'okwekuumira ku mutindo baafuna amalala nga kati banoga bibala byago."
Leero, Liverpool ekyalira Wolves mu Premier mu nsiike gy'erina okuwangula okusigala n'essuubi ly'okumalira mu ‘Top 4'. ManU yakubye West Ham 1-0, Chelsea n'eremagana ne Leeds 0-0, Leicester yatimpudde Sheffield United 5-0 sso nga Man City yawuttudde Fulham 3-0 ku bugenyi. Neville yagasseeko nti, "Ayavula tasobola kukwata adduka. Liverpool erinde sizoni ndala."