Tuesday, March 23, 2021

Lukwago waakusisinkana bammeeya b'ebibuga e Canada

Lukwago waakusisinkana bammeeya b'ebibuga e Canada

LOODI Mmeeya Erias Lukwago ayongedde okunyweza enkolagana y'ekibuga Kampala n'ebibuga by'amawanga agaakula nga Canada bw'akwataganye ne Bannayuganda ababeerayo okumutuusa ku Bammeeya b'ebibuga Edmonton ne Vancouver.

Lukwago bino yabituuseeko mu nsisinkano ne Kasim Ssali ssentebe wa Uganda Culture In Diaspora mu ofiisi ye ku City Hall mu Kampala gye buvuddeko.

Yagambye nti ekibuga Kampala kirina okukozesa omukisa guno okutegeeza ensi yonna ebirungi, obuwangwa n'ebifo eby'enkizo ebirimu. Ssali y'akulira enteekateeka z'okutegeka olukung'aana lwa Uganda Kwekwaffe Culture and Business Forum Canada olugenda okutambulira mu mikolo gya The World Heritage Festivals Edmonton, Bannayuganda mwe balina okukung'aanira mu kibuga Edmonton mu August w'omwaka guno.

Lukwago (ku kkono) ne Kasim Ssali.
Lukwago (ku kkono) ne Kasim Ssali.

Loodi Meeya yategeezezza nti agenda kukozesa omukisa gw'olukukung'aana luno mwe bamukoledde enteekateeka okusisinkana ne mmeeya wa Edmonton n'owa Vancouver abategeeze ebirungi ebiri e Kampala n'enteekateeka endala ze bayinza okuyambako okutumbula Kampala. Twagala tulage Abazungu ebirungi ebiri mu Kampala nga ku lubalama lw'ennyanja  Nalubaale mu bitundu okuli Luzira, Ggaba ne Munyonyo bye bayinza okutumbula nga bakoze omukago.

Ebifo eby'enkizo bye yanokoddeyo kye kiggwa ky'Abajulizi e Namugongo ne Munyonyo, ennyanja ya Kabaka n'Amasiro.

Ssali yategeezezza Lukwago nti ali mu nteekateeka okuwa Bannayugada abalala omukisa okwetaba mu lukung'aana luno era yabateerawo ofiisi ku Cornerstone Plaza ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa we balina okwewandiisiza okutuuka mu May.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts