Ebiremesezza okukuza abaana abalumirirwa abalala.
1. Obwavu; Omuzadde edda bwe yagulanga kabalagala n'amuleeta awaka yafubanga okulaba nti buli mwana afuna amumala. Kyokka ennaku zino omuzadde bw'aleeta ekyokulya oba kabalagala omwana alina okumusibira mu nnyumba aliire omwo bw'amalawo n'alyoka agenda mu banne n'azannya olwo ne kikugira omwana okufuna omutima ogulumirirwa abalala.
2. Abazadde tebakyalina budde; Omwana omuto ayitibwa mbuzi erundwa wa mumwa kyokka ennaku zino abazadde tebalina budde bwogera na baana baabwe omwana oluva ku bbeere nga bamuyingirizaawo nnasale ate amasomero agamu gafa ku kya kufuna ssente. Talina lunaku maama lw'abeera naye kumugamba nti omuntu akolera kino abalala.
3. Abazadde tebakyalina mukwano eri abaana baabwe; Omuntu tosobola kusaasaanya bubaka bwa kwagala nga ggwe toyagala. Omwana tosobola kumugamba alage abalala okulumirirwa n'omukwano nga ggwe tokikola oboggola buboggozi buli lw'oba oliko ky'omugamba.
Noolwekyo, sooka ggwe ng'omuzadde omulage okwagala n'okulumirirwa abalala, naye ajja kukifuna era akisse mu nkola.
KW'OLABIRA OMWANA ALUMIRIRWA ABALALA
Akulira abakyala ku lukiiko lw'ekyalo mu Nakulabye zooni II, Teo Nsereko agamba nti, omwana alina okwagala n'okulumirirwa banne omulaba akyali muto;
I Ayagala nnyo okugabana ne banne. Waliwo omwana lw'atuuka nga tasobola kulya kintu nga tawaddeeko muto munne, oyinza okwesanga nga bwe muba muliko kye mulidde awaka oba ng'omuwadde kasswiiti akazinga mu lugoye n'atwalirako munne.
Omwana ow'ekika kino, bw'alaba essaawa y'okulya ng'etuuse nga waliwo gw'atalaba abuuza abakulu lwaki gundi tazze kulya.
II Afaayo okuyamba banne. Wabaawo omwana nga talekerera banne, okugeza bw'asanga munne ng'aliko omulimu gw'akola ng'amuyambako. Ab'ekika kino b'osanga nga bwe bagenda ku luzzi okukima amazzi batikka buli omu n'okubasitulirako.
III Afaayo ku banne abali mu nnaku. Abaana ab'ekika kino b'osanga basirisa bannaabwe ssinga baba bakaaba, omu ayinza n'okukaaba ng'alaba gw'asirisa agaanyi.
IV Tasobola kuwaayiriza munne, naddala ng'amanyi nti abakulu bayinza okumukuba. Era abamu batuuka ne ku ssa ly'okuzibira bannaabwe bwe baba baliko ebikyamu bye bakoze, naye ng'ekigendererwa kya kulaba nga tebababonereza.