ABATANZANIA bongedde okutabuka ku bya Pulezidenti Magufuli okulwala oluvannyuma lwa Katikkiro okwogera eri eggwanga n'ategeeza nti yayogeddeko ne Magufuli. Olwo abantu ne bamuddamu nti bw'aba mulamu lwaki Magufuli yennyini tayogereko eri eggwanga.
Bino biddiridde amawulire okusaasaana mu Tanzania nti Magufuli yalwala corona n'amuyisa bubi n'atwalibwa okujjanjabibwa e Kenya. Ate ku Lwokutaano emikutu gy'amawulire okuli ogwa Al- Jazeera gyategeezezza bwe gyakitegedde nga Magufuli bwe yaggyiddwa e Kenya n'ayongerwayo e Buyindi nga muyi.
Magufuli yasembayo okulabikako mu lujjudde nga February 27, ku mukolo gw'okulayiza Minisita we Bashiru Ally. Emikolo emirala kw'alina okuba ng'omugenyi omukulu egimu gyayongezebwayo oba okutuma abakungu ba Gavumenti okumukiikirira.
Ku Lwokuna, obubaka bw'asasaanye nga Katikkiro wa Tanzanian, Kassim Majaliwa
bw'agenda okwogera eri eggwanga ku nsonga za Magufuli. Kino yakikoze ku Lwokutaano, n'agamba: Pulezidenti ali bulungi era we njongerera ali ku mirimu gye. Temuba na kutya.
Abooludda oluvuganya Gavumenti abakulirwa Tundu Lissu be baasoose okwanukula: Magufuli muntu wa bantu. Tayinza kuleka bawagizi be mu kizikiza nga bamaze okumatira ebigambibwa nti Pulezidenti muyi alwadde corona. Oba mulamu lwaki
Magufuli talabika ku ttivvi oba okuvaayo n'agumya abantu ye yennyini?
Katikkiro yayogedde asinziira mu kusaala Juma ku muzikiti gw'e Njombe. Yabadde tannava mu muzigiti, Sheikh eyakulidde okusaala n'agamba: Ebigambo bya Katikkiro biwa essuubi kyokka ebimu biwulikika ng'obulimba.
Buli ekigwa mu Tanzania, Magufuli avaayo n'ayogera eggwanga. Lwaki ku ky'obulwadde asirise n'aleka abalala bamwogerere? Era bangi ne bafuna akamwenyumwenyu wadde ate bangi baamunyenyerezza mutwe nga bamulabamu bulimba bwereere.
Katikkiro yayogedde mu Luswayiri: bannange waliwo abasasaanya obulimba nti Magufuli mulwadde. Antumye okubabuuzaako nti muli mutya? Emikutu egyagoberedde ebyayogeddwa Katikkiro gyagambye: Abantu mu kifo ky'okusanyuka olw'amawulire amalungi baasigadde beewuunya nti yiii Pulezidenti waffe leero abaddeki
obuteetuukira ku ttivvi ne leediyo nga bulijjo ng'ayagala okutubuzaako?
Ebibiina by'abakozi, abasawo, abalimi n'abakola mmu Masamba byafulumizza ebiwandiiko okussa ku nninga Gavumenti okunnyonnyola ekituufu.
Ng'ayogera ne bannamawulire ba Africa Report, Ado Shaibu ssaabawandiisi
w'ekibiina kya ACT Wazalendo ekimu ku bivuganya Gavumenti ya Magufuli, yategeezezza nti bannansi ba ddembe okubuuza ebikwata ku mukulembeze waabwe
n'okunnyonyolwa kubanga mukozi wa Gavumenti ate be bamulinako obuvunaanyizibwa.
Omulwanirizi w'eddembe Maria Sarungi, naye assa obubaka ku "social media" okulangira Gavumenti okukweka ebikwata ku Pulezidenti ng'ate bakimanyi
nti singa afuna ekizibu eggwanga lyonna liba mu kizibu kye kimu (yaakassaaayo obubaka bwa mirundi 31).
"Pulezidenti wa ggwanga era eggwanga lyagala kumanya aliwa era ali kuki?" Maria bwe yabuuzizza.
DR. Saleh Bakari ow'e Zanzibar nga kino kitundu kya Tanzania yategeezezza nti akadde
katuuse Abatanzania beesalire ku magezi ku bikwata ku corona kubanga atabuse naye ate aboobuyinza tebakyatula mu bulambulukufu.
"Bwe kituuse ku Pulezidenti okuteeberezebwa nti naye akwatiddwa corona, omugezi
amanya nti ebintu biwanvuye ne yeerwanako nga yeetaasa." Dr. Bakari bwe yagambye bannamawulire ba Africa Report.
Magufuli yalagira minisitule y'ebyobulamu e Tanzania mu May wa 2020 okulekera awo
okukebera abalwadde ba corona n'okufulumya ebikwata ku ssenyiga ono ng'agamba
nti eggwanga lyamulinnye ku nfeete.
Yagaana n'ebyomuggalo era eggwanga lye libadde mu kalulu k'Obwapuzidenti mu
kisanja ekyokubiri kye yawangudde ng'akuba enkungaana ez'amaanyi kyokka ng'okuva
ku ye okutuuka ku asembayo tekuli ayambadde masiki wadde eyanaabye mu ngalo.
Oluvannyuma lw'abanene mu Gavumenti ye abafudde nga kiteeberezebwa nti bafudde
corona, puleesa yeeyongedde ku Gavumenti ya Magufuli ekyongeredde ddala okutya mu bannansi nga ne Magufuli kennyini ali ku ndiri.
Abafudde mulimu n'abadde akulira baminisita, John Kijazi eyafiiridde mu ddwaaliro lya
Benjamin Mkapa Hospital. Ebya Kijazi byatabudde Abatanzania ekyawalirizza minisita Innocent Lugha Bashungwa ow'ebyamawulire okulabula munnamawulire yenna anaddamu okukubaganya ebirowoozo ku nfa ye n'okusamwasamwa n'ebya corona
nga talina bujulizi ku by'ayogerako waakusimbibwa mu mbuga z'amateeka.
Sunday, March 14, 2021
Magufuli- Abatanzania bongedde okusoberwa obulwadde bwe
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...