Sunday, March 14, 2021

Mmengo ekungubagidde kabaka wa Zulu

Mmengo ekungubagidde kabaka wa Zulu

Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde kabaka wa Zulu mu South Africa, Goodwill Zwelithini. Yafudde mu kkiro ekyakeesezza Olwokutaano.

Katikkiro Charles Mayiga

"Kabaka w'e Zulu abadde mukwano gwa Kabaka waffe Mutebi II. Mu 1995 bwe twali
tujjukira emyaka ebiri egy'amatikkira ga Kabaka, Zwelithini ye yali omugenyi wa Kabaka ow'enjawulo ate ne ku mbaga ya Kabaka mu August 1999 y'omu ku bagenyi
abakulu abaagiriko," Katikkiro bwe yategeezezza.

Obwakabaka bugenda kwetaba mu kuziika oba okusindika obubaka obusaasira.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts