Monday, March 29, 2021

Minisitule eyanjudde enteekateeka y'abayizi okwesomesa

Minisitule eyanjudde enteekateeka y'abayizi okwesomesa

MINISITULE y'ebyenjigiriza eragidde amasomero okuddamu okwetegereza bye balina okusomesa balondemu bye bawa abayizi bye bakakasa nti tebalina kubisubwa.

Wano minisitule weesinzidde n'eddamu okugumya abazadde n'abayizi nti byonna ebyetaagisa okusomesa abayizi mu kiseera ekyateekebwawo bagenda kubisoma babimaleyo.

Omuwandiisi ow'enkalakkalira mu minisitule y'ebyenjigiriza, Alex Kakooza alabudde nti abayizi bye balina okusoma bwe babisubwa mu kibiina kye babaddemu basobola okubibawa mu kiddako.

Omuyizi okusoma kisoboka bulungi okukolebwa ku ssomero mu kibiina oba mu kifo ekirala kyonna ne bw'abeera waka.

Abasomesa ba Uganda balina obukugu obwetaagisa okutaputa ebisomesebwa ne bamanya kiki ekyetaagisa okuwa omuyizi era ne bakimusomesa mu kiseera ekituufu n'akifuna.

Okutuukiriza enteekateeka eno, minisitule esazeewo okukuba mu kyapa ebimu abayizi bye baalibadde basomera mu kibiina babibagabire nga bali eka beesomese ng'emu ku nkola gye balina okuyitamu okujjuliriza bye balina okusoma.

Ebipya bye babawadde baakubisoma nga bakozesa obudde bwe bandibadde bakozesa okugenda mu mpaka z'ebyemizannyo wakati w'amasomero oba disitulikiti ez'enjawulo kubanga byayimirizibwa.

Okunyweza enteekateeka eno, abakulira amasomero be  bagenda okubeera abalambuzi b'amasomero abasookerwako.

Kyokka n'abasomesa bennyini bagenda kuddamu okubawa emisomo egy'okubabangula ku nteekateeka eno empya.

Wakati mu nteekateeka yeemu, abayizi aba P6, S3 ne S5 kye bavudde babatonderawo ttaamu ey'enjawulo era wano Kakooza ategeezezza nti abayizi abali mu bibiina bino tebalina biseera bimala.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts