Bya Eric Yiga Abakiise ku lukiiko lwa disitulikiti y'e Mukono bakanyiiza ne bayisa ekiteeso eky'e Ssaza ly'e Nakifuma okwekutula ku Mukono efuke disitulikiti eyentogodde. Ekiteeso kino kireeteddwa omukiise wa ggombolola y'e Kasawo, Samalie Musenero ne kisembebwa abakiise bonna. (Ebif. Bya Eric Yiga)
Musenero ategeezezza nti Bannakifuma abakwatibwako ensonga eno baatuula ne bateesa era ne basalawo okufuulibwa disitulikiti nga beesigama ku nsonga eziwerako omuli okuba n'omuwendo gw'abantu ogwetaagibwa mu mateeka, okusembeza obuweereza okumpi n'abantu n'ebirala.
Omu ku bakiise abawagidde ekiteeso kino Hajji Asuman Muwumuza ow'e Koome agamba nti nga bbo ab'e Mukono South nabo bakisemba nti kuba Nakifuma erina buli ekyetaagisa okufuuka disitulikiti.
Omukubiriza w'olukiiko luno Emmanuel Mbonye asabye Minisita owa gavumenti ez'ebitundu Raphael Magyezi okukola ekyetaagisa okutwala ekiteeso kino mu Palamenti okulaba nga kino kituukirizibw kuba Nakifuma yalwawo okufuuka disitulikiti olw'entalo z'ebyobufuzi.