Bya Stuart Yiga
Abasuubuzi abakolera mu katale ka St. Balikuddembe akamanyiddwa nga Owino, bajaganya olw'okulondebwa kwa Susan Kushaba ng'akulira akatale kano ow'ekiseera. Ono azze mu kifo ky'abadde Ssentebe w'akatale kano, Godfrey Kayongo Nkajja oluvannyuma lwa Gavumenti okweddiza akatale kano.
Obwedda abasuubuzi beeyiwa ku mudaala gwe ogw'engoye nga bamuyozaayoza okugwa mu bintu. Kushaba agumizza abasuubuzi okubakulembera nga tayawuddemu muntu yenna olw'eggwanga lye.
Wabula ebyokwerinda bibadde binywevu oluvannyuma lw'abamu ku bawagizi b'abadde ssentebe Godfrey Kayongo Nkajja wamu n'aba Joseph Lwanga, okwesoma okukolawo akatiisa nga bawakanya okulondebwa kwa Kushaba.