Sunday, March 14, 2021

Obunkenke mu katale k'abaazirwanako e Wakaliga

Obunkenke mu katale k'abaazirwanako e Wakaliga

WABADDEWO akasattiro ku katale k'abaazirwanako e Wakaliga ekiwayi ky'abagambibwa okuba abaazirwanako bwe kizinze ofiisi z'abakulembeze b'akatale kano okuziwamba ekivuddeko okubalukawo akanyoolagano wakati w'enjuuyi zombi.

Kyatutte eddakiika ezisoba mu 40 nga ofiisi z'akatale kano zeebulunguludwa amagye, LDU ne poliisi nga ne ku mulyango omunene oguyingira akatale kukuumwa ba mmundu era ng'omuntu okuyingira, asooka kwewozaako.

Ku ssaawa 4:00 emmotoka zaatandise okuyingira akatale nga muno mwe mwabadde n'eya Maj. Gen Elly Kayanja ey'amagye. Yabadde aleeteddwa ekibinja ekiwakanya abali mu buyinza era bwe yatuuse kwe kwesogga ofiisi za ssentebe mwe yamaze ebbanga mu kafubo. Era olwavuddeyo yalinnye bulinnyi mmotoka ye n'agenda.

Kayanja olwasimbudde n'abuuka oluggya lw'akatale, ssentebe w'akatale kano Benon Bwambizo n'alagira buli abadde mu kiwayi ekibadde kizze okubafulumya naye okumutwala nga ttalinya ekyaleeseewo okubuguutana.

Bwabizo yannyonnyodde nti waliwo ekibinja ky'abantu baabulijjo, kkooti be yagoba mu ofiiisi mu 2019 abaagenda ewa Maj. Gen. Kayanja ne bamuwabya nti be balina okuba mu ofiisi era babadde bamuleese abayambe okubazza mu ofiisi kyokka bwe baamunnyonnyodde n'akitegeera n'abavaamu.

Yagaseeko nti bano baagala kubba ttaka lya baazirwanako era n'asaba Pulezenti Museveni abayambe abawe ekyapa ky'akatale kano okwewala bino .

Akulira abaazirwanako mu Lubaga, Moses Tabora yagambye nti kyakoze bulungi Maj. Gen. Kayanja yazudde ekituufu era ababadde balumbye abali mu ofiisi baakikoze mu bukyamu kubanga abalimu, kkooti ye yabassaamu mu mateeka.

Omu ku bali ku ludda oluwakanya era olwaleese Gen.Kayanja yagambye nti abali mu ntebe tebaabakkiriza kuyingira kuwulira bye baagambye Maj. Gen. Kayanja era baakuddayo gy'ali beekubire enduulu ku butamatira bwabwe.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts