Olumbe lw'embwa luwemmense kakadde n'omusobyo.
Abatuuze b'e Masanafu mu kinoonya Zooni bawuniikiridde mutuuze munnaabwe bw'afiiriddwa embwa ye n'agikungubagira ng'omuntu.
Remme Natasha amanyiddwa nga 'Muvabulaya Obama' yawuniikiriza abatuuze bw'asazeewo okukuumira embwa ye olumbe. Embwa eno ebadde eyitibwa Jaguar ng'efiiridde ku myaka 10.
Natasha yategeezezza nti embwa ye yatandika okunafuwa ku Lwokuna nga ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde yagitwala mu ddwaaliro lya Small Animal Clinic ku Buganda RD gye bamutegeereza nti yali efunye obuzibu bwe kibumba n'ensigo ssaako okulumbibwa enkwa n'enkukunyi.
Natasha agamba nti mu ddwaaliro yayasudde emitwalo 17 ate nga lwo olumbe luwemmense ensimbi ezisoba mu 1,500,000/-.
Agamba nti oluvannyuma lw'abasawo okujjekebejja baagiwa ekitanda era ne bagiteekako eccupa wabula mu ddwaaliro yamalayo olunaku lumu n'efa.
Agambye nti emyaka 10 gy'amaze n'embwa ye temulyangamu lukwe era ng'ebadde ya mukwano nnyo gy'ali ne ffamire ye kwe kusalawo okugikungubagira mu kitiibwa.
Ono yagigulidde essanduuke mwe bagireetedde okuva mu ddwaaliro ssaako okukupiisa emijoozi okuli ekifaananyi kyayo abakungubazi gye bayambadde.
Awaka bakumye olumbe era ne bafumba n'emmere y'okugabula abakungubazi. Entaana ya Jaguar yasimiddwa mu luggya .
Natasha asabye minisitule evunaanyizibwa ku bisolo okuteekawo ekifo awaziikibwa ebisolo nga bino nga bifudde okusinga okubisuulanga ku nsiko.