Thursday, March 4, 2021

Okulonda ebiwata bagufudde mulimu

Okulonda ebiwata bagufudde mulimu

OBULUNZI bw'ebisolo mu Kampala n'emiriraano bwe bweyongedde abatunda emmere ne babeera ku mugano nga gwa nswa.

Wadde ng'abamu ku balunzi bakyalina omukisa gw'ebibangirize omuli omuddo mwe balundira ente naddala ezo ezigumira endwadde, abalala balunda nzungu ne maleeto ezitagumira ndwadde ziva ku ttale. Kino kitegeeza ziba zikuumirwa mu kifo kimu.

Bazitemera omuddo, kyokka era bagattako ebiwata nga bimamiriddwaako omunnyo n'ebiriisa ebirala okuweza amata.

Kino kitegeeza nti ku byokulya ebirala ng'omuddo, ebiwata byandibadde byongerezebwako, singa oba obifunye, okusobola okufuna ekisingako.

Abakungaaanya ebiwata bakikola batya?
Batuukirira ab'ebirabo by'emmere eby'enjawulo nga babikuhhaanyiza mu bukutiya
ne babitwala mu kifo kimu we babipakirira mu bukutiya mwe babitundira.

Buli kakuyita okutali mutwe bakatunda wakati wa 5,000/- ne 6,000/- okusinziira ku kitundu.
Olunaku olumu asobola okukungaaanya obukutiya butaano omuva ssente wakati wa
25,000/- ne 30,000/-.

Bw'oggyako ssente z'osaasaanyizza ku bantu abayinza okukusabayo okukuhhaanyiza ebiwata bino nga babyawula mu bisaaniiko ebirala, ssaako n'ababikusomberako, osigala offissa ekiwera.

(Binnyonnyoddwa Alex Mafabi ali mu mulimu guno e Katwe).

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts