Thursday, March 4, 2021

Bakanyama bakoonye enju y'omutuuze

Bakanyama bakoonye enju y'omutuuze

OMUTUUZE ali mu maziga oluvannyuma lwa bakanyama okukkakkana ku mayumba ge ne bagamenya n'okwonoona ebintu bye nga bamulanga kulemera ku ttaka.

Bakanyama bano baasoose kusalako ekyalo Namabele mu divizoni y'e Nyenga mu disitulikiti y'e Buikwe nga babagalidde emiggo, embazzi, ensuuluulu, ennyondo
n'ebirala.

Proscovia Nakiberu gwe baakoonedde amayumba yategeezezza nga bakanyama bano bwe baamusalako ku Ssande nga bukya nga baasooka kumukonkona olwaggulawo ne bamutegeeza nga bwe baali batumiddwa Omuyindi nnannyini kkolero lya sukaali erya
GM Sugar eyategeerekeseeko erya Akash okukoona ennyumba ye olw'okulemera ku ttaka.

Nakiberu yategeezezza nga bwe yabeegayirira obutakoona nnyumba ye n'abalaga
n'ebbaluwa ya  minisita w'ebyettaka, Beti Kamya gye yawandiikira RDC w'e Buikwe ng'ayimiriza okugoba abatuuze ku ttaka lino wabula tebaawulirizza.

Yategeezezza nti bakanyama baakulembeddwaamu omusajja eyategeerekeseeko erya Maliki eyakkaatirizza ng'ettaka kwe bali bwe liri ery'Omuyindi Akash nga liddukanyizibwa MMP Industrial park.

Nakiberu yategeezezza ng'Omuyindi bwe yasooka okukozesa abapoliisi n'amagye okugoba abatuuze n'okubakaka okukwata ssente entono bave ku ttaka wabula abatuuze ne baddukira mu bakulembeze n'ewa minisita Kamya ssaako Palamenti era minisita Kamya nga February 5, omwaka guno yawandiikira RDC w'e Buikwe,
Jane Francis Kagayi ng'amulagira okuggya abaserikale ku ttaka lino n'okuyimiriza okusengula n'okumenya amayumba g'abantu.

Nakiberu yategeezezza nti abaamenye ennyumba ze baayonoonye ebintu bye ne badduka ne ssente z'ekibiina.

Ono yategeezezza nga bw'abadde omuwanika w'ekyalo era nga musuubuzi wa byannyanja era nga bakanyama babbye ssente obukade 37. Nakiberu yaddukidde
ku Poliisi y'e Njeru n'atayambibwa kwe kugenda ewa RDC Kagayi. Ennyumba endala ezisoba mu 20 nazo baazimenye.

RDC Kagayi yategeezezza ng'abamenye ennyumba bwe baakikoze mu bukyamu era yalagidde Poliisi ebanoonye ebakwate n'alagira n'Omuyindi Akash okuliyirira
Nakiberu.

Akash teyafunise kunnyonnyola ku nsonga eno.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts