Tuesday, March 9, 2021

Omukunzi wa FDC attiddwa mu ntiisa

Omukunzi wa FDC attiddwa mu ntiisa

AKULIRA okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde bamusse ne kireka ebibuuzo ku bigendererwa by'abatemu.

Emmanuel Atuhairwe yatemuddwa mu ntiisa omulambo gwe ne bagusuula ku kkubo. Poliisi yategeezezza nti abantu baasembye okulaba Atuhairwe ng'alinnya mmotoka ya buyonjo okuva e Mbarara okudda e Lyantonde kyokka teyatuuse.

Abaamusse omulambo baagusudde ku mabbali g'ekkubo e Mweere Cell, Nyakinengo, Biharwe disitulikiti y'e Mbarara. Poliisi yaggyewo omulambo okugutwala mu ggwanika ly'eddwaaliro ekkulu e Mbarara. Atuhairwe abadde musuubuzi e Lyantonde era nga munnabyabufuzi akulira okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde.

Omumyuka wa Ssabawandiisi wa FDC, Harold Kaija yategeezezza nti baafunye amawulire nti abantu baamulabye alinnya emmotoka ya buyonjo ekika kya Wish okuva e Mbarara. Omulambo baagusanzeeko ebiwundu ku mutwe.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts