Monday, March 8, 2021

Pulezidenti annyonnyodde lwaki amagye gakwata abantu

Pulezidenti annyonnyodde lwaki amagye gakwata abantu

PULEZIDENTI Museveni annyonnyodde lwaki amagye ne SFC bakwata abantu n'agamba nti okunenya ebitongole by'ebyokwerinda kikkirizibwa kyokka abanenya basooke kukikola ku bamenyi b'amateeka.

Abeenyigira mu bikolwa eby'effujjo abajjukizza nti akabwa akabbi kagumya mugongo, waliwo abantu abakyalina endowooza eyo esibuka mu nkola z'obuwangwa nti omuntu asobezza bamukuba naye ebyo NRA/UPDF bwe yajja okudibya.

Yagambye nti abo abaakwatibwa oba okuttibwa beebo abaayagala okulumbagana abaserikale, abaakola obulumbaganyi ku muserikale omukyala mu kwekalakaasa kwa November 2020 n'okwambula abaali bambadde emijoozi gya NRM.

Yagambye nti abaakola kino kyalimu ebyobufuzi nga baagala okutabangula eggwanga balowoozese abantu nti NRM eremereddwa okukuuma emirembe gy'erudde ng'erwanirira.

Bwe kyatuuka mu kiseera ky'okulonda ne gujabagira nga waliwo abagamba nti oyo yenna agenda mu maaso okuwagira NRN bajja kumutta, okumukolako obulumbaganyi oba okusaawa ebirime bye nga bwe kyali ku mulembe gwa Kabaka Yekka mu 1961/62.

Ku Katale e Kawempe waliwo abawagizi ba NRM abaafuna okutiisibwatiisibwa ne baddukira ku poliisi okwekubira enduulu ne babategeeza nti ebyo byabufuzi nga
poliisi teyeeyingiza mu byabufuzi.

Yagambye nti ab'oludda oluvuganya nga luwagirwa abagwira baalowooza nti kino kiseera okuwamba obuyinza nga tebayise mu mitendera era akimanyi nti waliwo abali mu Uganda abaali beeyisa ng'embuukizi nabo baabawagira.

Yagambye nti baalowooza nti Uganda bagenda kugikwata nga supermarket mwe bateeka ebyamaguzi byabwe buli kiseera kyokka bano yasuubizza okuboogerako mu kiseera ekijja.

Yannyonnyodde nti okutandika ne November 20, 2020, Abazira ba UPDF nga bali ne bakomando wamu n'aba LDU baakola ebikwekweto mu Kampala ne batta bannalukalala okwali; Semanda Joshua ow'e Makerere Kivvulu ono komando omukyala ye yamutujja ekyasi, Serunjoji Alex ow'okumwala gw'e Nakivubo. Nti bano battibwa nga bagezaako okulumbagana abaserikale.

February 13, 2021 werwatuukidde nga bangi abaakwatibwa babatadde kyokka SFC yabadde ekyalinayo 53, okuva olwo babiri bayimbuddwa.

Yasaasidde abaaluka olukwe era n'abasekerera kubanga bangi ku baakwatibwa baayasizza ebyama byabwe byonna era kati bano mikwano gya gavumenti be yagambye nti omukwano guva mu ngabo.

Yategeezezza nti olunaku lw'okulonda nga lutuuka, abamagye 24,000 be baayibwa okwetooloola eggwanga. Era bakuuma emirembe mu kulonda ne mu kiseera nga kuwedde. Yagambye nti kituufu waliwo abattiddwa nti era obumulumulu obulinga obwo bubeerawo kyokka abo abazze bakola ensobi ezo bagenda kubalondoola batereeze awasobye.

Yajjukizza nti mu mwaka gwa 1979 ebibuga bya Uganda bingi byalimu abaserikale abaanyagulula amaduuka ne bizinensi z'abantu nnyingi. Yawadde eky'okulabirako kya kkampuni ya UGIL eyakolanga essaati za Yamato eyali eya UDC ne munnansi wa Japan omusuubuzi Muzeeyi Kashiwada, eyo yagwa teddanga ngulu n'okutuusa olwaleero.

Nti kyokka NRA bwe yakwata obuyinza yawamba ebibuga ebiwerako okuli; Fort-Portal, Mubende, Kiboga, Kasese, Kamwengye, Bushenyi, Ibanda, Mbarara, Kabaale, Masaka, Kampala, Jinja, Tororo, Mbale, Gulu, Lira, Arua.

Yasoomoozezza omuntu yenna amubuulireyo bizinensi ezaanyagibwa, abantu abaakubibwa oba okuttibwa. Yagambye nti bwe kiba nga kyaliyo bwali bumulumulu nga bwe kiri nti ssemwezi gwaka nga misana kaakiro tabulamu.

Yagambye nti abajaasi tebeenyigira mu kukola ffujjo kubanga baali babasomesezza nti omujaasi omulungi alina kweyisa nga dokita alongoosa omulwadde. Abeera n'akambe naye tasala ng'omukinjaagi bw'akola.

"Akaso ka dokita kanoonya awali ekizimba ne kakisala n'akiggyamu kyokka bwe kamala gasala awo abeera afuuse mukinjaagi".

Yawadde ekyokulabirako nti omusawo alongoosa omulwadde wa kkansa takozesa kaso buli kiseera, ky'ova olaba nti abakugu bazze bavumbula ne bakola ekyuma ekikalirira ne kitta akawuka ne kirekawo ekitundu ekigasa omubiri.

Ne NRA/UPDF bw'etyo bw'ekola, egenda mu bantu abangi n'enoonyamu abalabe abalina ebissi kyokka nga si beetegefu kwewaayo. Omulabe alina ekissi asobola okubeera n'ennyondo, akambe, ejjambiya. Yagambye nti mu lutalo lw'e Rwanda abantu akakadde kalamba battibwa nga bakozesa jjambiya (machete).

Yagambye nti kyokka emyaka mitono egiyise yawandiika n'ajjukiza abaserikale n'ebitongole by'ebyokwerinda akabi akali mu kutta abantu nga tebawozezza,
ensobi eyo bw'ebeera yaddiddwaamu era yazzeemu n'abawandiikira abalabule.

Yannyonnyodde nti okukwata abantu abamu kye bayita okubabuzaawo kyava ku lukwe abeebyokwerinda lwe baagwamu olwatandikira emabegako nga batta abantu
nga Bamasheikh, Joan Kagezi.

Abaserikale ba poliisi nga Andrew Felix Kawesi ne Muhammed Kirumira, Maj. Kiggundu, okutta abakazi e Nansana n'e Ntebe. Bino byamuwaliriza okwogera eri palamenti nga June 20, 2018 n'agitageeza nti empenda ezitemeddwa okulwanyisa abalabe okwali okusimba kkamera ku nguudo n'okutendeka aba LDU.

Ogwo omuyaga gw'abamenyi b'amateeka gwakkakkanyizibwa abamu ne battibwa oba okukwatibwa.

  Paul Loketch

MUSEVENI ALABUDDE ABADUUMIZI BA POLIISI KU NGUZI

Bwe yabadde asisinkanye abaduumizi ba poliisi mu State House e Ntebe ku Lwomukaaga, Pulezidenti Museveni yabalabudde nti nga bbo abaduumizi singa bava ku nguzi ne bebakulembera baakubalabirako bagiveeko.

Amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Gen. Paul Loketch ye yakulembedde abaduumizi ba poliisi okwabadde ba RPC, DPC, n'abaduumira ebitongole eby'enjawulo.

Museveni yakoze okulabula kuno nga yeesigama ku lipooti ya kaliisoliiso wa gavumenti
gye yafulumizza gye buvuddeko ng'eraga nti poliisi eri mu kifo kya ku mwanjo mu kulya enguzi. Yabajjukizza nti avudde mu myaka gya 1970 ng'afuba okulaba nti abantu abasomye ne bafuna ddiguli bettanira okuyingira poliisi.

Yabajjukizza okulabula kwe yabawa gye buvuddeko okukwata obulungi abo abateeberezebwa okubeera nga bazzizza emisango nga tebasosodde bannansi n'abagwira. Yalabudde nti tebateekwa kubayisa ng'ekyokuttale nga babakuba n'okubatulugunya.

Yakiggumizzza nti tewali muntu ateekwa kukkirizibwa kutiisa bulamu bwa muntu oba
okwonoona ebintu bye kubanga emirembe n'obutebenkevu kye kisumuluzo ekiggulirawo abalambuzi okwettanira Uganda.

Ng'atuuse ku ky'omusaala gw'abaserikale, Museveni yagambye nti gwakwongezebwa
mu bwangu ddala ng'ebyenfuna by'eggwanga bikkiriza embeera eno.

Loketch yakakasizza Museveni nti mu bbanga ttono agenda kubeera ng'alaba ‘poliisi empya'.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts