Thursday, March 11, 2021

Omulamuzi wa kkooti Enkulu avudde mu musango gw'enkaayana z'ettaka

Omulamuzi wa kkooti Enkulu avudde mu musango gw'enkaayana z'ettaka

Omulamuzi wa Kkooti Enkulu etuula ku Twed Towers, Eudesi Kayitirima avudde mu musango gw'enkaayana z'ettaka erisangibwa mu Kizungu mu munisipaali y'e Makindye erirudde nga likaayanirwa Omumbejja Bwanga bwa mirembe n'ettendekero lya Makerere University.

Omumbejja Bwanga ne looya we.

Omusango guno gumaze emyaka 10 nga guwulirwa mu kkooti wakati w'omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga z'ebyobuwangwa, Omumbejja Faridah Namusisi Naluwembe Namirembe Bwanga bwa mirembe ne Makerere University nga liwerako yiika 15.

Omusango guno guzze guwulirwa abalamuzi ab'enjawulo okuli: Moses Kazibwe Kawumi n'abalala kyokkan bazze bagusuulawo oluvannyuma lw'oludda lwa Makerere University okwebuzaabuza n'obutaleeta bujulizi mu musango guno.

Bwanga ng'ali mu kkooti.

Munnamateeka wa Bwanga, Yafesi  Ochengi ategeezezza nti balooya ba Makerere University obutalabika kye kimu kubiremesezza omusango okugenda mu maaso ekyawaliriza omulamuzi Kaitirima okuva mu musango guno.

Ayongeddeko nti buli omusango bweguweebwa omulamuzi omulala gubeera ng'ogutandika obutandisi.

Omumbejja Bwanga yeewunyizza abantu abajja ng'abapakasi nga banoonya obubuddamu gye baafuuka Makerere University abafunvubidde okumutwalako ettaka lino.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts