Thursday, March 11, 2021

Ffene bamusuubula mu bungi okumufunamu

Ffene bamusuubula mu bungi okumufunamu

WALIWO ebintu by'oyinza okubuusa amaaso olw'okuba wakula obiraba ate nga tebyatwalibwanga nga bya mugaso kyokka nga kati mu mbeera naddala ey'ekibuga abantu babiyaayaanira.

Ekimu ku bintu bino ye ffene, nga mu kiseera kino wa ttunzi nnyo eri abantu aba buli kika okuviira ddala ku bakolera ku kkubo okutuukira ddala ku bali mu ofiisi ag'ebitongole n'amakampuni ag'amaanyi.

Abagezi baazuula dda ekyama ekiri ekiri mu ffene era kati obusuubuzi bwa ffene babuwanise ku mutindo ogwa waggulu. Abamutunda kati bamunoonya mu byalo ne bamussa ku kabangali kwe bamutuusiza e Kampala era ne bamutundira okwo kwennyini ku mabbali g'ekkubo oba mu katale.

Ggwe agenda okusuubula ffene awerako bakuweera ku bbeeyi ya kisuubuzi n'ow'ekimu naye bamuwa ebbeeyi ndala. Abo abagula ow'okuliirawo nga simusosole nabo tebabagoba ate n'omusosole bbeeyi ya njawulo. Omusosole mu kaveera akeeru wamu n'abo abamutembeeya mu busowaani bw'ebipapula nabo balina enteekateeka ya bbeeyi yaabwe. Kino kikolebwa obutatta mikisa gya buli kasitoma aba agenze ku mudaala.

ENGERI GYE BAKOLAMU SSENTE                                                                                                                                                  Okusooka byonna ffene asuubulwa ku balimi ku bbeeyi ya wansi okusinziira ku bunene bwa buli kimu. Ekimu kye yasuubudde ku 2,000/- asobola nate okukisuubuza wakati wa 3,000/- ne 4,000/-. Ekimu ayinza okukitunda ku ssente 5,000/-.

Ffene y'omu bw'asalawo okukisalamu ebiwaayi okutandikira ku bya 500/- okudda waggulu asobola okkukiggyamu 7,000/- ate bw'akisosola n'akissa mu busowaani bw'ebipapula kiweza 10,000/-. Bw'ogatagatta ssente ze yasaasaanyizza ku ntambula, abakozi abamuyambako , ekifo mw'okolera obusowaani n'obuveera asigala efissa ekiwera. (Binnyonnyoddwa Davis Kabanda ali mu mulimu guno mu Kisenyi mu Kampala).

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts