Tuesday, March 23, 2021

Omuyizi eyawangula obwakkansala kitaawe amummye ffiizi

Omuyizi eyawangula obwakkansala kitaawe amummye ffiizi

OMUYIZI Amos Wambedde 19, owa S.5 asomera ku St. Balikuddembe SS Kisoga eyawangula obwakansala kitaawe amummye ffiizi okuddayo ku ssomero.

Wambedde yeesimbawo mu kalulu akaakaggwa n'awangula obwakkansala ng'akiikirira Mugomba Parish ku ggombolola y'e Mpatta ku kaadi ya NUP.

Yategeezezza nti kino kyavudde ku butakkaanya bw'alina ne kitaawe Moses Madada gw'agamba nti muwagizi wa NRM nga ne mu kalulu yali awagira gwe yavuganya naye.

Omuyizi addukidde mu ofiisi ya Ssentebe wa disitulikiti y'e Mukono, Andrew Ssenyonga Luzindana ng'amusaba amuyambe okwogera ne kitaawe amuzzeeyo ku ssomero kubanga kati banne bawezezza omwezi mulamba nga basoma.

Ssentebe Andrew Ssenyonga Ng'annyonnyola.

Bwe twayogeddeko ne Moses Madada yategeezezza ng'ensonga zino bwe ziri eza ffamire kyokka n'agamba nti mutabani we talina nsonga yonna gye yeekwasa kubanga ebyetaago byonna abirina.

Ssentebe Ssenyonga awanjagidde Madanda okukkakkanya obusungu azzeeyo mutabani we ku ssomero asobole okukuza ekitone kye eky'obukulembeze nti oba olyawo alimuyamba mu bukadde.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts