Bya John Bosco Mulyowa Minisita w'eby'obulimi n'obulunzi mu ggwanga, Vincent Bamulangaki Ssempijja alambudde omulimi omututtumufu e Masaka, Omulangira Livingstone Musanje n'amusiima okubeera omusajja omukozi n'asaba Bannamasaka okumulabirako. (Ebif. bya John Bosco Mulyowa)
Musanje ow'oku kyalo Ttakkajjunge mu ggombolola y'e Kabonera e Masaka ku kulima agattako okulunda enkoko. Musanje ategeezezza Minisita nti alina n'omwana gwaweerera ng'asoma mateeka mu ggwanga lya Canada naye ng'ensimbi ziva mu bulimi n'obuluunzi!