Tuesday, March 16, 2021

Agambibwa okubba boodabooda ku siteegi y'e Kasenyi alula

Omusajja atategeerekese mannya agambibwa okubba  pikipiki ya Ali Nsamba omuvuzi wa boodabooda e Kasenyi alula.

Omusajja ono yeefudde ayagala okugula boodabooda ne bamuwa avugemu alabe oba nnamu bulungi. Nnannyini yo alabye takomawo kwe kumwekengera n'amanya nti bamubbye. Atemezza ku banne ne babuukira boodabooda ne bamuwondera.

Omubbi ono pikipiki emukubye ekigwo ku luguudo lw'e Kasenyi we bamukwatidde ne bamuyisaamu ensambaggere okutuusa poliisi ya Bayitababiri lw'ezze n'emutaasa.

Aba boodabooda ku siteegi y'e Kasenyi bagambye nti si gwe mulundi ogusoose nga bababba era ababbi beefuula abaagala okugula pikipiki olugimuwa okuvugamu taddamu kulabikako.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts