Bya Rosemary Nakaliri
ABASUUBUZI abakolera mu Kisenyi, Mengo ku Musajja Alumbwa beekubidde enduulu ewa RCC wa Kampala ku bantu ababagoba ku ttaka lino. Kiddiridde okufuna obubaka obubatiisatisa okwamuka ekifo obutasukka mwezi guno bwe batakikola baakuboonoonera ebintu byabwe.
RCC wa Kampala, Hawa Ndege yabasisinkanye n'okulambula ekifo we babagoba n'abagumya nti tewali agenda kubagoba.
Yalabudde abalina enteekateeka y'okutaataaganya abantu bano okukikomya wabula beeyanjule mu ofiisi ye n'ebiwandiiko ebikakasa nti ekifo kyabwe.
Ate nnannyini kifo kino Sula Mawanda yategeezezza nti abatiisatiisa abapangisa be tabamanyi