
SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Kadaga, agugumbudde baminisita mu Gavumenti b'agamba nti basusse okusaanyawo ebibira nga basala embaawo ekyonoonye obutonde bw'ensi nti kyokka bwebatuuka okwogera ku mikolo egitegekebwa okutaasa obutonde ne bakissa ku bantu baabulijjo abatalina musango.
Bino abyogeredde ku palamenti olwaleero bw'abadde atongoza apulikesoni (App) eyitibwa ROOTs App eyakoleddwa okugula n'okusimba emiti egisoba mu bukadde 200 mu myaka etaano egijja mu nteekateeka ewomeddwaamu omutwe Kkampuni ez'enjawulo nga zikulembeddwa Uganda Breweries n'ekigendererwa eky'okutaasa obutonde bw'ensi.
Bw'abadde ayogerako eri abantu ku mukolo guno oluvannyuma lw'okusimba omuti, Kadaga alaze obwennyamivu olwa baminisita abeesomye okusaanyawo ebibira n'ategeeza nti azze yeetoloola ebitundu by'eggwanga bitali bumi nga yeebuuza ku Bannayuganda baani abasaanyawo ebibira mu bitundu byabwe nti kyokka eky'ennaku bangi ku baminisita bazze basongebwamu olunwe n'ategeeza nti baminisita bateekwa okweddako okusobola okutaasa obutonde.