Wednesday, March 3, 2021

SPC Faizal Katende eyakwatibwa ku by'okuwamba Abanyarwanda alaajanye

SPC Faizal Katende eyakwatibwa ku by'okuwamba Abanyarwanda alaajanye

Bya Margaret Zalwango

OFIISA wa poliisi SPC Faizal Katende asabye kkooti emukkirize okuyimbulwa ku kakalu ka`ayo. Bino Ssentebe wa kkooti olubiwulidde ne yewuunya okuba nga bulijjo akyali mu kkomera.

Katende yakwatibwa mu 2017 boofiisa abalala ku misango gy'okuwamba bannansi ba Rwanda abaali banoonya obubudamu mu Uganda ne babazza e Rwanda nga tebafunye lukusa.

Oluvannyuma yayimbulwa ku kakalu ka kkooti kyokka naddamu nakwatibwa n'avunaanibwa emisango gy'okusangibwa n'ebyokulwanyisa mu bukyamu era wano Gutti we yeewunyirizza omuntu gwe yayimbula ate okukomawo mu maaso ge ng'amusaba okweyimrirwa.

Lt. Gen Andrew Gutti yalagidde oludda oluwaabi okunnyonnyola obulungi kkooti engeri Katende gyakyalemedde mu kkomera ng'ate banne bangi baayimbulwa dda.

Capt. Ambrose Guma yasabye baweebwe obudde okutuusa wiiki ejja baleete byonna ebikwata ku musango gwa Katende ssaako okwanukula ku kusaba kwe okwokweyimirirwa.

Katende yayise mu looya we Elizabeth Nyansingwa n'asaba ayimbulwe awoze ng'ava bweru n'abuulira kkooti nti omusango ogumuvunaanibwa gweyimirirwa, alina abamweyimirira abamatiza kkooti.

Banne okuli Jeol Aguma, Herbert Muhangi, James Magada, Benon Atwebembeirwe, Abel Tumukunde n'abalala bayimbulwa kyokka ye ne Nixson Agasirwe ne basigala mu kkomera. Gutti yalagidde addeyo mu kkomera okutuusa wiiki ejja nga March 9, oludda oluwaabi lwanukule ku kusaba kwe.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts