Nga yaakamala sizoni emu yokka mu ManU, omuwuwuttanyi wa ttiimu eno Donny van de Beek asabye bakama bamute yeegatte ku ttiimu endala gy'asobola okuzannyira omupiira.
ManU, yagula Van de Beek ku bukadde bwa pawundi 40 ng'ava mu Ajax sizoni ewedde wabula okuva lwe yajja, akyalemeddwa okufuna ennamba esooka. Yaakatandika emipiira gya Premier ebiri gyokka.
Okusinziira ku gavaayo, Omudaaki ono waakusisinkana amyuka ssentebe wa ttiimu eno, Ed Woodward nga sizoni eno tennagwako. Wabula ye omuzannyi alemeddeko nti tajja kulinda kitone kye kufiira ku katebe ng'ate alina waasobola okuzannyira.