Bya Nicholas Kalyango
ENJOGERA egamba nti gw'olekera abato tegunyuma yatukidde bulungi ku nnakinku w'okusoma maapu mu mmotoka z'empaka George Ssemakula bwe yasazeewo okuddamu okuvuganya ku ngule ya ddigi z'empaka.
Ssemakula yasemba okuvuganya mu ddigi mu myaka gy'e 90 ng'akyali muto era ennaku zino essira abadde eriteeka kukulaba nga batabani be; Miguel ne Jonathan Katende bayitimuka mu muzannyo guno nga bawangula engule ez'enjawulo.
Emirundi egisinga Ssemakula abadde asinga kulabibwa ng'ayasira batabani be okwongera ku sipiidi n'okulaba nga bongeramu amaanyi bamegge be bavuganya nabo. Ku Ssande, Ssemakula bino yabitadde ku bbali n'abuukira ddigi mu mpaka ezaabadde e Garuga okukkakkana ng'amezze be yavuganyiza nabo.
"Nja kusingala nga nkyasoma maapu wabula ddigi kati nazo nakomyewo era ng'enda kuvuganya n'amaanyi ku ngule ez'enjawulo. Mazze ebbanga nga mbeera mu kusala nsobi za batabani bange nga baboonga ddigi naye kati ye ssaawa nabo batandike okusala ezange," Ssemakula bwe yagambye.
Uganda eri mu kaweefube waakukola ttiimu enaavuganya n'amaanyi mu mpaka za Afrika (Motorcross of African Nations - MXOAN) ezigenda okubeera mu Uganda mu August. Ssemakula asomera Arthur Blick maapu mu mmotoka z'empaka.