Wednesday, April 14, 2021

Aba Yellow Power beemulugunya olwa NRM obutafaayo nga batuusibwako obulabe

Aba Yellow Power beemulugunya olwa NRM obutafaayo nga batuusibwako obulabe

ABAVUBUKA b'ekisinde kya Yellow Power  mu kibiina kya NRM,  bavuddeyo ne bakukkulumira bakama baabwe obutafaayo ng'abawagizi ba NRM wansi batuusibwako obulabe.

Baabadde mu lukungaana lwa bannamawulire ku ofiisi z'ekibiina kyabwe mu Ndeeba, ne bategeeza nti bali mu kutya olw'obulumbaganyi obubakolebwako abooludda oluvuganya gavumenti omuli; ;okubonoonera ebintu byabwe, okubatiisatiisa  n'okubatuusaako obulabe.

Pauson Twinamasiko, omukwanaganya w'emirimu mu kibiina kino agambye nti, baludde nga batwala ensonga zaabwe eri abakulembeze ba NRM naddala ewa ssaabawandiisi w'ekibiina kino, Kasule Lumumba n'abakulu abalala, ku bannaabwe abazze batuusibwako obulabe, nti kyokka tebafaayo wadde okugenda mu malwaliro okubalambula oba okubayambako ekibamalamu amaanyi. Bamala kutuukitira pulezidenti n'abayamba, n'akola emirimu abakulembeze be gye bandikoze.

Bongedde okuteeka ku nninga abakulembeze ba NRM  mu ofiisi ennene ez'enjawulo, olw'okulemererwa okutuukiriza n'okuteeka mu nkola ebigendererwa bya gavumenti ya NRM nga bwe yabiteeka mu manifesito ne batandika kwenoonyeza byabwe kukkusa mbuto zaabwe, kye bagambye nti kibakyayisizza mu bantu n'okulaba gavumenti ya NRM ng'etalina kyekoledde bantu.

Gerald Kasagga,  ssentebe w'ekibiina kya Yellow Power mu ggwanga agambye nti, gavumenti yeetaaga okugogola obukulembeze bwayo okuviira ddala waggulu mu bakulira ebitongole, abakulira  pulojekiti ezandiyambye abavubuka n'abantu abalala,  ne bavumaganya gavumenti.

Agambye nti, bbo nga Yellow Power beewaddeyo okunoonyereza ku mivuyo gyonna egikolebwa abanene mu gavumenti bagyanike osanga baneddako.

Bavumiridde ne Bajjo  olw'okuggya ssente mu gavumenti nga yeefudde agenda okuyamba abantu, n'atabaako wadde kyateekawo okubayamba.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts