Wednesday, April 14, 2021

'Amasomero agasomesa ebibiina abatanakkirizibwa Gavt. baakuggyibwako layisinsi'

'Amasomero agasomesa ebibiina abatanakkirizibwa Gavt. baakuggyibwako layisinsi'

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde ekiragiro kya gavumenti ne gatandika okusomesa ebibiina ebitannakkirizibwa .

Bino abyogeredde mu lukungaana lw'abamawulire lw'atuuziza ku Town Council e Ntebe.
 
Ndaga agambye nti ebibiina ebitannakkirizibwa mulimu, P.1, P.2, P.3, ne S.2 n'agamba nti bagenda kusuula enkessi nga singa essomero lisangibwa nga lisomesa ebibiina bino lyakuggyibwako layisinsi. 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts