RCC wa Kampala Hudu Hussein asekeredde abakulembeze b'omu butale abaggyibwako kyokka ne basigala nga balwana okubwezza n'agamba nti bamala biseera ng'asiikira enkoko ebinyeebwa.
Kino kiddiridde ekiragiro Pulezidenti Museveni kye yayisa mu 2020 ng'alagira okuyimiriza obukulembe bw'obutale bw'omu Kampala bwonna budde mu mikono gya Gavumenti.
RCC Hudu bino yabyogeredde ku kitebe ky'amawulire ekya Media Centre eggulo n'agamba nti Gavumenti yeddiza obutale buno kubanga abasuubuzi baali babinikibwa emisolo egya buli budde kwe kubayamba batandike okweyagaliramu n'okufuna ekiwera ku ntuuyo zaabwe.
''Kyategeerekeka nti omusolo abasuubuzi gwe baali bawa gwali gususse nga eyalina okusasula emitwalo 100,000/- yali asula 300,000/-, kino kyawaliriza Gavumenti okuggya obuyinza kuba ssekinoomu abaali baddukannya obutale buno.'' Bwe yayongeddeko''
Yagambye nti enteekateeka eno yaakugobererwa mu butale nga ak'e Wandegeya n'e Nakasero nga aka Owino ke kabadde katunuuliddwa okuddako.
OBUKULEMBEZE BWA OWINO
RCC Hudu yayongeddeko, nti mu Owino babadde tebannalonda bukulembeze bupya kubanga katale kanene akeetaaga okukeekenneenya nga mu kiseera kino baateekawo akakiiko ak'ekiseera akaddukanya akatale kano.
Yayongedde n'ategeeza nti abategeka okulonda abakulembeze mu katale beenoonyeza byabwe nti kuba okulonda okwo kwakubaawo nga Pulezidenti amaze okulayira.