Tuesday, April 13, 2021

Abalimi e Lwabenge balaajanidde minisita ku bubbi bwa vanilla.

Abalimi e Lwabenge balaajanidde minisita ku bubbi bwa vanilla.

ABALIMI ba vanilla mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu beekubidde omulanga ewa Minisita avunaanyizibwa ku byobulimi, obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja abataase ku bubbi bwa Vanilla obukudde ejjembe mu kitundu kyabwe.

Bano abakulembeddwa Harunah Mugerwa bategeezezza Minisita Ssempijja abasisinkanye ku kyalo Lukenke mu musomo gw'ebyobulimi nti vanilla kye kimu ku birime bye babadde bongedde ku mmwaanyi okugaziya ku nfuna yaabwe, nga bw'azze abakubiriza obutatega mutego gumu,nti naye ababbi batuuse okumubagobako singa tewabaawo kikolebwa mu bwangu.

Mugerwa agambye nti ogusembyeyo ewuwe wokka babbyewo kkiro ezisoba mu 100 nti kyokka bwe yaddukidde ewa banne okuli Isa Busuulwa, Sulaiman Lwabuyonza n'abalala nabo yasanze bakaaba ekintu kyekimu ne basoberwa.

"Tubadde tufunye omukisa ng'ettaka lyaffe libaza bulungi ekirime kino naye tukyalemeddwa okufunamu olw'ababbi abatufiiriza ensimbi eziri mu bukadde" Mugerwa bw'akaatiriza ku lwa banne.

Minisita Ssempijja mu kwogerako gye bali agambye nti bwe baba nga ku bulimi bw'emmwaanyi bagasseeko vanilla kyongera kumuwa essuubi nti bazzeemu omulanga gw'abaddenga abakubira okwettanira obulimi n'obulunzi eby'enjawulo nti olwo naye abakwatireko bongere okukulaakulanya ebitundu byabwe n'eggwanga lyonna.

Abagumiza nti tebasaanye kuva ku mulamwa gwa kukola olw'ababbi  n'agamba nti agenda kwogera n'abebyokwerinda ensonga bagikoleko mangu eve mu ddiiro,era yeeyamye okutambulira awamu nabo naddala mu kubafunira ensigo ennungi n'ebirala ebyetaagisa nti nga bwe kiri ku mmwaanyi.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts