Friday, April 9, 2021

Abalunzi b'eby'ennyanja balaajana lwa bubbi

Abalunzi b'eby'ennyanja balaajana lwa bubbi

Bya Emmanuel Balukusa

ABALUNZI b'ebyennyanja ku mwalo gw'e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘'Masese Cage Fish Farmers Co-operative Society'' balaajana lwa bubbi bw'ebyennyanja obususse ku nnyanja Nalubaale.  (Ebif. Emmanuel Balukusa)

Abamu ku balunzi by'ebyennyanja nga basibayo eppipa.

Abamu ku balunzi bano baategeezezza nga bwe baatandika omulimu guno nga bagusuubiramu ebirungi bingi kyokka boolekedde okwavuwala n'okuguvaamu olw'obubbi.

Cedric Buzabo omu ku balunzi yategeezezza nti baatandika okulunda ebyennyanja mu 2019 n'engege emitwalo 50 kyokka bwe byaweza emyezi etaano ne babibba.

Cedric Buzabo omu ku balaajana.

Ate ye Christopher Kasozi  yategeezezza nti waliwo balunzi banne abaamukoledde ettima ne babba ekipipa ekikwata obutimba omubeera ebyennyanja era ebyennyanja omutwalo gumu byamudduseeko ne biyingira ennyanja.

Ono ategeezezza nti kino kigenze okubaawo baasooka kumubba ebyennyanja emitwalo esatu. Poliisi yakutte abantu bano abateeberezebwa okwenyigira mu bubbi buno nga bakuumirwa ku CPS e Jinja.

Kyokka Ssentebe w'abalunzi b'ebyennyanja Majidu Magumba ategeezezza nga bwe waabaddewo akasattiro ku mwalo ng'abamu ku balunzi balumiriza bannaabwe okubabbira ebyennyanja. Yawakannyizza eky'okubba eby'ennyanja n'agamba nti omuze guno gwakoma mu 2017.

Abalunzi basabye minisita w'ebibiina by'obwegassi  Fredrick Ngobi Gume okuyingira mu nsonga z'ekibiina kyabwe kye bagamba nti kijjuddemu emivuyo.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts