Saturday, April 10, 2021

Okukola tayiro okuva mu bisusunku by'amagi

Okukola tayiro okuva mu bisusunku by'amagi

Bya Ruth Nazziwa

" Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw'okuba nali nfunye obukugu mu kukola ebizimbisibwa, kwe kutandika okutetenkanya ne ntandika okukola tayiro mu bisisunku by'amagi.," Godfrey Sengoonzi okuva mu FEGO Industries mu Kiteezi bw'agamba. 

Ssengoozi ng'alaga ebintu byakozesa.

Bye weetaaga okukola tayiro 12 okuva mu bisusunku by'amagi.

  • Ebisusunku by'amagi kkiro munaana
  • Sementi, kkiro 3
  • Sementi omweru kkiro 3

Omugatte, okukola sikweya mitta emu eya tayiro eziva mu bisusunku by'amagi nzisaaasaanyizaako 17,900/- ne nzitunda 30,000/- .

Kuno bwe nziggyako ze nataddemu nfunako amagoba ga 12,100/- n'okweyongerayo kubanga ebiseera ebisinga ebikozesebwa bwe mbigula mu bungi, osaasaanya kitono n'amagoba ne geeyongera. Era ku sikweya mitta emu nfunako amagoba ga 10,000/-. Wabula kasitoma bw'aba agula tayiro mu bungi , musalirako.

Okuuma otya akatale?

Nze mbakubisa mutindo gwokka, kuba nfuba okulaba nga nkola ekintu ekirungi nga kasitoma bwakitunuulira tafuna bibuuzo

Okusoomoozebwa

Olw'okuba tayiro zange nnungi, bakasitoma mbafuna era bangi bantuukirira nga abaazinguzeeko babalagiridde nga bazaagala abamu nga balina sayizi ey'enjawulo gye baagala okubakolera naye okusoomoozebwa okusinga obunene kwe nnina kwe kuba nga sinnafuna busobozi bumatiza katale ka tayiro akaliwo.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts