Emirimu gisannyaladde ku ssomero lya Good Luck Junior School e Katalemwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti y'e Wakiso abasomesa n'omukulu w'essomero bwe batabukidde nnannyini ssomero.
Abasomesa bano nga bakulembeddwaamu Hedimasita, Wiliam Kalema n'abasomesa okubadde Emmy Tusubira ne Johah Ojangwere n'abalala bavudde mu mbeera ne batabukira omugagga David Wambuga ne bamusika ebitogi nga bwe bamwogerera ebisongovu nga bagamba nti bakooye okukolera mu bugubi.
Bagamba nti bakooye okubatyoboola n'okubavumira mu maaso g'abayizi. Baagala abawe ssente zaabwe ez'omwezi oguwedde bamuviire .
Kalema ategeezezza nti okukola kino babadde bakooye okujoogebwa kubanga Wambuga abadde asussizza okubayisa obubi.
Bano bateeezezza ng' ensonga ebatabudde ye Wambuga okuleeta omukuumi mu ssomero n'amala wiiki nnamba nga tategeezezza basomesa ssaako kyokka nga ate asula mu kisulo ky'abaana abalenzi nga n'omukuumi bwe bagezaako okumubuuza nga naye abavuluga buvuluzi.
Bbo abazadde abatuuseeko ku ssomero basabye abakulu bano okutuula ku mmeeza okulaba nga bagonjoola ebizibu byabwe basomese abaana baabwe mu kifo ky'okudda mu kuyombagana.