Tuesday, April 20, 2021

Kangaawo akunze Abalemeezi ku siriimu

Kangaawo akunze Abalemeezi ku siriimu

OMWAMI wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly' e Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo agugumbudde bassemaka  abaganza abaana abatanneetuuka ne babafunyisa embuto oluusi n'okubasiiga siriimu ne batattana ebiseera byabwe eby'omu maaso.

Kangaawo yasabye abantu okukuuma emijigi emito n'okugitwala ku masomero kuba Ssaabasajja be yeesize okutwala Buganda mu maaso. Avumiridde  n'abawala abatuuse okufumbirwa ne badda mu kumalira obudde mu basajja  ng'abamu tebalina gye bagenda kubatwala.

Kangawo Ng'alayiza Abaami Ba Ssaabasajja Ab'ebitongole E Butuntumula

Asinzidde ku mbuga y'eggombolola ya Mumyukansege Butuntumula ng'alayiza abaami ba Ssaabasajja ab'ebitongole n'avumirira omuze gw'okweraguza nagwo ogulemedde mu Bulemeezi n'awa abantu amagezi ensimbi n'embuzi bye batwala ku basawo bazitereke bakolemu ebintu ebijja okubakulaakulanya okusinga okuziwa abafere.

Abaami be yalayizza yabalabudde okwewala okutunda ettaka lya Kabaka wabula kukunga bantu okwekulaakulanya nga bayita mu bulimi n'obulunzi, okukola bulungibwansi, okusomesa abaana, okukola ennyo n'okwekebeza endwadde. Abasabye n'obutabeera wala na bantu be bagenda okukulembera.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts