Ng'ensonga z'ettaka zongera okusattiza Bannamityana n'ebitundu ebiriraanyewo, waliwo abatuuze abavudde mu mbeera ne bakwata emiggo ne balumba abapakasi b'omugagga baabadde atadde ku ttaka okukola nga bagamba nti yabba libbe.
Wabula poliisi etuuse mu bwangu n'etaasa embeera eno n'eyita abatuuze batuule mu nsonga zino. Akassattiro kano kaabadde ku kyalo Kunywa, mu Divizoni y'e Busimbi mu Munisipaali y'e Mityana, okumpi n'ekitebe kya disitulikiti era awali ne poliisi.
Siraje Zziwa, Ssentebe w'ekyalo kino yagambye nti nnannyini ttaka yattibwa buttibwa gye buvuddeko era abakaayanira ettaka be bamu ku baali bavunaanibwa kyokka bwe baateebwa ate kati balaba ettaka litwalibwa.
Abatuuze basobeddwa olw'enkaayana z'ettaka ezizzeemu nga n'abamu basibwa ku poliisi olw'emisango egibateekebwako nga gyekuusa ku ttaka lino. Balaajanidde poliisi n'ebitongole by'okwerinda okuyingira mu nsonga zaabwe.
Ku byalo Nsanvu ne Nsimimu mu ggombolola y'e Butoloogo mu disitulikiti y'e Mubende waliyo abantu abasukka mu 1000 abasula ku teebuukye nga batya okusengulwa.
Ku kyalo Naama mu Munisipaali ye Mityana, nayo waliwo omusomesa Fred Ssaka, agamba nti waliwo omuntu eyeeyita nnannyini ttaka nga yayiye abakozi ku kibanja kye kyawangaliddeko, ne basaawa ebintu bye byonna.
Ssentebe w'ekibiina ekigatta ab'ebibanja ekya Uganda Bibanja Holders Association, Abraham Luwalira, atuuseeko mu bitundu bino abatuuze ne bamulombojjera ennaku gye bayitamu. Ono alopedde Ssentebe Luwalira era n'asaba buli waabuyinza asobola amuyambe afune obwenkanya.