Thursday, April 15, 2021

Fr. Tamale waakuziikibwa Bukalasa

Fr. Tamale waakuziikibwa Bukalasa

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde aweereza ku kiggo ky'e Villa Maria e Masaka.

 Mu buweereza bwe abadde agattako n'okuyimba ennyimba z'eddiini era abadde atera nnyo n'okwetaba mu ssaala ez'enjawulo ezibeera ku lusozi lw'e Bukalango ku Mt. Sion Prayer Center. 

Abadde yaakalongoosebwa emirundi egiwerako era wabaddewo kaweefube w'okusonda ssente atwalibwe  India ateekebwemu ensigo endala wabula kino tekisobose.

Omu ku booluganda lw'omugenzi atutegeezezza nti waakuziikibwa ku Lwamukaaga ku ssaawa 8:00 ku Seminariyo e Bukalasa.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts