Ebitongole byebyokwerinda omuli poliisi n'amagye bibadde byegumbulidde omuze ogw'okukuba n'okutulugunya bannamawulire nga bakola emirimu gyabwe .
Nga Febuary 17, 2021 amagye gakkakkana ku bannamawulire e Kololo ne gabakuba emiggo era bangi baavaayo banyigabiwundu.
Bano abaali bagenze okuweereza Bannayuganda ebyali bigenda mu maaso nga Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) atwala ekiwandiiko ku kakiiko k'ekitongole ky'Amawanga Amagatte akavunaanyizibwa ku ddemmbe ly'obuntu aka United Nations High Commission for Human Rights (OHCHR) nga yeemulugunya ku mbeera abawagizi be gye bayisibwamu ebitongole by'ebyokwerinda.
Abamu ku bannamawulire abaakubwa kuliko Timothy Murungi ne Henry Ssekanjako nga bano ba New Vsion, Joseph Sabiti, Josephine Namakumbi aba NBS, Geofrey Twesigye ne John Cliff Wamala nga bano ba NTV, Iren Abalo nga ono wa Daily Monitor, Amina Nalune owa Galax FM n'abalala.
Bannamawulire abalala abaali e Kololo emisinde gye gyabeeyimirira.
Si gwe gusoose amagye okwetonda
Enkeeera nga 18 omuduumizi w'amagye mu ggwanga Gen. David Muhioozi yasisinkana bannamawulire ku kitebe ky'amagye e Mbuya ne yeetonda olw'ebyo ‘batabani' be bye baali bakoze bannamawulire ebyali butyobooleera ddala eddembe lyabwe.
Mu ddoboozi ekkakkamu ennyo Gen. Muhoozi yagambye: Ku lwa UPDF nnyimiridde wano okubasaba ekisonyiwo era ebyabaddewo yabadde nsobi ya bantu kinnoomu era tujja kukola ekyetaagisa okulaba ng'abaakoze ekikolwa kino bavunaanibwa mu mateeka ga UPDF" Gen. Muhoozi bwe yategeeza.
Kkooti y'amagye etuula e Makindye ng'ekubirizibwa Lt. Col. Gai Mpandwa yavunaana era n'esingisa bannamagye 7 emisango gy'okukuba n'okutulugunya bannamawulire ne baweebwa ebibonerezo
EMMESE OKULUMA NGA BW'EFUUYIRIRA
Amagye gaali geetonda ng'eno poliisi bwe yeewera okugenda mu maaso n'okukuba bannamawulire era olwokuba bannamagye oluusi bambala ebyambalo bya poliisi abatunuulizi baasigala beebuuza oba kano si kazannyo ka mmese okuluma nga bw'efuuyirira nga eyakwetondedde ng'ali mu byambalo by'amagye ate assaamu ebya poliisi n'akuweweenyula emiggo. Pulezidenti Museveni gye buvuddeko yategeeza nti amagye gajja kusigala nga gayamba ku poliisi mu mirimu gyayo okutuusa poliisi lw'eneetereeza era tulabye emirundi egiwera nga bannamagye bakolera mu byambalo bya poliisi.
Bannamawulire bwe baasaba omuduumizi wa poliisi mu ggwanga IGP Martin Okoth Ochola okwetonda olw'ebigambibwa nti basajja be baatuusa obuvune ku bannamawulire yagaana.
Yagamba nti tajja kubeetondera okuggyako okubategeeza nti abasirikale be bajja kwongera mu maaso n'okubakuba.
"Sisobola kubeetondera mmwe bannamawulire mbu tubakuba, wabula tujja kugenda mu maaso n'okubakuba nga tutaasa obulamu bwammwe. Tubagaana okugenda awali ebizibu mmwe ne mugendayo, kati tujja kubakuba okubatangira okugendayo" Ochola bwe yategeeza bannamawulire abaali ku kitebe kya poliisi e Naggulu.
Kale abaamagye okwetonda ng'ate poliisi bwe yeewera okuweweenyula abaamawulire emiggo tokyawula na mmese eruma nga bw'efuuyirira kubanga n'amagye oluusi gambala ebya poliisi okuyambako ku poliisi mu mirimu gyayo.
Abaamagye bwe baazannye omupiira ne bannamawulire mu kulaga obwasseruganda era ekibuuzo kyasigadde kyebuuzibwa nti kino kimala okussa ekkomo ku kutyoboola eddembe lya bannamawulire n'abantu abalala okukolebwa bannamagye?
Source