Thursday, April 22, 2021

Omuwala atunze ekiggya n'atundiramu ne bassenga be abakadde

Omuwala atunze ekiggya n'atundiramu ne bassenga be abakadde

Omuwala atunze ekiggya n'atundiramu ne bassenga be abakadde.

Diana Nalunga y'atundidde ba ssenga be okuli; Mary Nalunga ne Lydia Nakamya ab'e Kabojja mu ttaka okuli ebiggya bya kitaawe ne bajjajjaabe, kati bassenga basaba beekikwatako okubayamba ku muwala waabwe ono.

Abakadde baana ba mugenzi okuli; Celestino Kasirye, Jjajja wa Nalunga eyatunze ekigya e Kabojja okumpi ne Kyengera.

Bagamba nti, kitaabwe omugenzi Kasirye yabalekera ettaka lino nga lya baana bawala abalemereddwa ensi bakungaanire awo okumpi n'ekigya bakikuume,  kyokka muwala waabwe Diana Nalunga, muwala wa mwannyinaabwe omugenzi Joseph Ssekajja akkakkanye ku ttaka ly'ekigya n'alitunda.

Bassenga Be Baatundira Mu Ttaka.

Bagamba nti bbo abalenzi baaweebwa kitundu kirala ekisangibwa e Nangabo Kasangati nti kyokka Nalunga yakigaana ayagala wano awaabwe.

Balumirizza omugagga   Hajji Hussein Mayanja okwekobaana ne Nalunga n'agula ettaka lyabwe mu bukyamu.

Nalunga agambibwa okutunda ekiggya kya jjajjaawe n'atundiramu ba ssenga be ategeezezza nti, bassenga be baagala kutwala mugabo gwe ogwali ogwa kitaawe.

Agamba nti, bassenga be baafuna omugabo gwabwe ne kitaawe n'afuna ogugwe, ogwabwe baagutunda, ne basalawo okwewangamya ku mugabo gwa mwanyinaabwe kitaawe wa Nalunga.

Agamba nti,  yaasaba dda ba Ssenga be okumuwa   omugabo gwa kitaawe ne bagaana, ne basalawo okugenda mu kkooti, naye n'agenda ew'akola ku nsonga z'abafu (Administrator General) n'amuwa obuyinza ku bintu bya kitaawe kuba yamuzaala omwana omu, era ebiwandiiko byonna abirina mu butuufu bwabyo, n'alumirizza ba Ssenga be okwagala okumubba.

Abakadde bano balaajanidde aboobuyinza okubataasa ku muwala waabwe kuba tebalina webalaga wano we bakulidde era ge maka gaabwe awali n'ekigya we baliziikibwa.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts