Tuesday, April 6, 2021

Baganda ba Bobi Wine batabuse lwa ttaka lya kitaabwe ne baddukira mu kkooti

Baganda ba Bobi Wine batabuse lwa ttaka lya kitaabwe ne baddukira mu kkooti

EBYOBUGAGGA bya taata wa Bobi Wine bitabudde abaana ne batwala bannaabwe mu kkooti nga bagamba  nti  baagala kwekomya mmaali ya mugenzi mu bukyamu.

Abaana b'omugenzi Willington Ssentamu (Taata wa Bobi Wine) 18 nga bakulembeddwaamu abayimbi okuli; Irene Mirembe, Mikie Wine, Banjo Man ne Dax Vibes be baddukidde mu kkooti y'e Mpigi enkulu ne baggula ku bannaabwe 13 nga babalumiriza okwekomya ettaka eryali erya kitaabwe okuli ffaamu emanyiddwa nga Buyaaya.

Abatwaliddwa mu kkooti kuliko omuyimbi; Eddie Yawe (Edward Yawe), Fred Nyanzi amanyiddwa nga Chirman Nyanzi, amyuka kitunzi wa Gomba, Joseph Kasibante, Margret Namagembe n'abalala nga bano babavunaana okugezaako okwekomya ettaka lya kitaabwe erisangibwa e Lwaweeba mu ggombolola y'e Maddu mu Gomba.

Omulamuzi wa Kkooti y'e Mpigi enkulu, Anthony Oyuko Ojoko yawulidde omusango guno kyokka oluyi lw'abaana 18 ne bamutegeeza nti bakkaanyizza bagabane ettaka lino kyenkanyi.

Kyagulanyi

                       Eddie Yawe

                    Fred Nyanzi
Ffaamu Ya Taata Wa Bobi Wine Emanyiddwa Nga Bulaaya Esangibwa E Maddu.

Omuyimbi Dax Vibes Ngali Ku Kkooti Ne Mukulu We Joseph Kasibante Omu Ku Be Batutte Mu Kkooti.

Wano omu ku bawawaabirwa Joseph Kasibante ategeezezza omulamuzi nti ku baana b'omugenzi Ssentamu 32 ku lukalala kuliko 31 nga Bobi Wine taliiko kyokka puliida wa bawaabi n'ayanguwa amangu nategeeza omulamuzi nti Bobi Wine akkaanyizza nabo era namulaga ekiwandiiko kwe yatadde omukono.

Wabaddewo enkalu ku by'engabana, oludda lw'abawaawabirwa bwe lwasabye kkooti ebakkirize baleke kufuna kyenkanyi n'abato baabwe kyokka omuyimbi Dax Vibes (Ivan Bugembe ne Banjo Man (Henry Ssentamu) ne balinnya mu kyoto nga bakiwakanya nti si kyabwenkanya era okukkakkana nga kkooti yonna esanuuse wabula abasirikale ne babakakkanya.

Baganda Ba Bobi Wine Nga Bali Ku Kkooti Y'e Mpigi.

Abamu  Ku Baganda Ba Bobi Wine Nga Batuuse Ku Kkooti E Mpigi.

Mikie Wine Dax Vibes Ne Banjo Man Ku Kkooti Ye Mpigi Ne Baganda Baabwe

Empaaba Y'omusango Ng'eriko Awaabi N'abawawaabirwa.

Kkoti ewummuddemu ku ssaawa 6:00 n'eddamu ku 7:00 okusalawo eggoye ku biki ebigenda okugobererwa mu ngabana.

EBINTU 5 EBISALIDDWAAWO KKOOTI
Basazeewo ettaka lino lipuntibwe amangu ddala batoleko yiika 100 eza Apollo Byamugisha ne yiika endala 10 eza Stanely Gwaya olwo bagabane ekitundu ekisigadde.

Abaana bonna baakufuna ettaka kyenkanyi nga tebafudde ku myaka kyokka abawawaabirwa bapunte emigabo gyabwe gisalweko ku ttaka lya baana abalala.

Omu ku bamulekwa Margret Namagembe abadde yateeka ‘kaviyeeti' ku kitundu ky'ettaka ekimu ku ttaka lino, kkooti emulagidde okugiggyako bunnambiro.

Kkooti esazeewo ensimbi enkalu omugenzi Ssentamu ze yaleka ku Account ya bbanka ya Finance Trust zonna ziweebwe bannamwandu ababiri okuli Alice Nantumbwe ne Madrine Namale gattako Francis Ssemanda.

Ensimbi ezisasaanyiddwa mu musango guno kkooti esazeewo buli ludda lwesasulire ezaalwo.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts