EKITONGOLE ekisolooza omusolo ekya URA kimezze Robert Kyagulanyi ( Bobi Wine) mu musango gw'emmotoka ye etayitamu masasi, Kkooti Enkulu bw'egaanyi okuyisa ekiragiro ky'ekiseera ekigaana URA okuddamu okukebera emmotoka eno.
Kkooti egambye nti yadde nga Bobi yagitegeeza nga emmotoka eno bw'emuyamba mu byentambula n'ebyobukuumi, alemeddwa okulaga nti singa emuggyibwako n'eweebwa aba URA okuddamu okugikebera ajja kukosebwa nnyo mu ngeri gavumenti gy'etasobola kumuliyirira.
Omulamuzi Emmanuel Baguma agambye nti wadde nga tannasala musango oba nga URA erina obuyinza okuddamu okukebera emmotoka ya Bobi omulundi ogwokubiri, tasobola kuyisa kiragiro kya kiseera kigaana URA kuddamu kugikebera kubanga Bobi talaze ngeri gy'ajja kukosebwamu.
Ensala ya kkooti kati ewadde URA omwagaanya okubowa emmotoka ya Bobi baddemu okugikebera singa aba agaanyi okugiwaayo mu ddembe kubanga tewali kiragiro kya kkooti kibagaana.
Kyokka ba looya ba Bobi nabo bategeezezza nga bwe bagenda okujulira okuwakkanya ensala ya kkooti.
Emmotoka ya Bobi ey'ekika kya Toyota Land Cruiser V8 nnamba UBJ 667F etayitwamu masasi ezze eyogeza abantu ebigambo olw'engeri gye yatuukamu mu ggwanga n'eyita ku bakugu ba URA abasooka okugikebera nga tebategedde nti teyitwamu masasi.
Aba URA baasooka ne bakera emmotoka eno era n'egigerekera n'omusolo kyokka oluvannyuma lwa Bobi okuvaayo n'ategeeza eggwanga 'nti emmotoka teyitamu masasi, bamulagira agizeeyo bagikebere kyakyagaanyi.