ABAKULEMBEZE mu ggombolola y'e Nakitoma mu Nakasongola basabye gavumenti enoonye ensimbi esasule nnannyini ttaka okulundirwa enkula erisukka mayiro 17 ayagala okulitunda, kye baagambye nti kigenda kukosa ebyenfuna n'okwonoona obutonde bwensi.
Kino kiddiridde nnannyini ttaka lino Capt. Roy eyalipangisa aba Rhino Fund Uganda okwagala okusazaamu liizi n'abeekitongole ky'ebisolo ekya UWA baggyewo ensolo zino.
Ssentebe w'eggombolola y'e Nakitoma, Richard Ssennyimba yategeezezza nti ensolo zino zibadde ziyingiza ensimbi olw'abalambuzi abeeyiwayo
okuziraba, abakozi abasukka 170 abakolayo ne babawa omusolo n'abalunzi ababadde balundirayo bonna abaayimiriziddwa.
Aba UWA beddizza ffaamu eno era ne bakugira buli muntu okuyingirayo ekyatandikiddewo okusala aba loogi ne wooteeri olw'abalambuzi abatakyajja n'abakozi okudda eka ssaako abalaalo ababadde balundirayo ente ezisoba 3,000 abali mu kubundabunda.
Ssentebe Sennyimba yategeezezza nti ssinga gavumenti esasula nnannyini ttaka n'ataliguza batema miti ne basimba ebikajjo n'okugoba ensolo zaabwe kijja kuba kitaasizza ggombolola eno.
Source