Oluvannyuma lw'akazannyo akaategekebwa ekitongole ky'ebyobulambuzi mu ggwanga ekya Uganda Tourism Board akamanyiddwa nga ‘Take on the Pearl' akabadde ku mutimbagano okumala emyezi esatu nga banoonya nnamukisa aneewangulira okulambula ebifo eby'enjawulo mu ggwanga kyaddaaki kakomekkerezeddwa mu bizinga.
Abawanguzi b'omulundi guno batwalidawa mu bizinga bye Kalangala okuwummulako awamu n'okulambuzibwa ebifo eby'enjawulo era nga omuwanguzi w'omulundi yabadde Ssaalango Raymond Okidi. Ono yatwalidwa ku Brovad Hotel Beach Ssese era ng' eno gye bakwatidde n'olunaku lw'Amazuukira ga Kristo.
Bano baasoose kulambuzibwa ebifo eby'enjawulo omubadde n'enju eyazimbibwa John Speke ng'ono ye yazuula ensibuko y'omugga gwa Kiyira ogumanyiddwa nga River Nile, ekkuumiro ly'ebisolo erisangibwa ku kizinga ky'e Kalangala n'oluvannyuma ne batwalibwa ku kizinga ekimanyiddwa nga Vagin.
Dorcas Namajja omu ku bakitunzi b'ekitongole ky'ebyobulambuzi mu ggwanga ategeezezza ng'ekitongole kino bwe kyafuna okusoomoozebwa olw'ekirwadde kya COVID 19 olwabalambuzi abali bettanira okujja mu Uganda okwesalako.
Agamba nti kino kyakosa nnyo ebyobulambuzi mu ggwanga era nga y'ensonga waki baavuddeyo ne bateekawo obuzannyo nga buno okusobola okusikiriza abantu ab'enjawulo okwettanira ebyobulambuzi mu ggwanga.
Namajja asabye Bannayuganda okuvaayo batandike okuwagira ebyobulambuzi mu ggwanga baleme kulowooza nti omulambuzi alina kuvanga bweru w'eggwanga.