Monday, April 12, 2021

Enkuba teremesezza bigezo kukolebwa

Enkuba teremesezza bigezo kukolebwa

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona bigezo by'abayizi baabwe aba S6 ebitandise enkya ya leero.

    Ab'omu kitundu ky'e Lukaya bibakwasiddwa akulirawo, Sr. Juliet Adrajo ng'ali ne bakalabaalaba b'akakiiko k'ebigezo mu ggwanga.

Ono Ng'atwala Ebigezo By'abayizi.

     Akulira ebyenjigiriza mu Kalungu David Bbaale Mukasa abaddewo n'agamba nti ebigezo bya S4 ne Pulayimale byatambula bulungi ng'asuubira nti n'ebya S6 tebibeemu buzibu.

    Asabye abasomesa n'abayizi okwebaza Katonda eyakakkanyaamu ku muggalo gwa Ssenyiga omukambwe owa COVID 19 ne basobola okutuula ebigezo .

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts