Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti omuzannyi ono w'anaddira nga sizoni eweddeko.
Omuzibizi ono enzaalwa y'e Scotland, y'omu ku basinze okuyamba Arsenal kyokka obuvune bumusumbuwa ekisusse. Gye buvuddeko, yafuna obuvune bwe yaweekuka ekibegabega ekyamumaza ku ndiri ebbanga eriwera.
Arsenal yawangudde Sheffield United ggoolo 3-0 ku Ssande era mu nnamba ssatu, Granit Xhaka ye yazannyeeyo.
Gye buvuddeko, Arteta abadde ku puleesa olw'abawagizi ababadde bamutadde ku nninga olwa ttiimu okuvumbeera mu mipiira egimu.
Mu gwa Europa, Arsenal yalemaganye ne Slavia Praha ggoolo 1-1, ekyanyiizizza abawagizi era abamu ne bagamba nti, "Arteta atuviire…"
Obuwanguzi Arsenal bwe yafunye bwagitutte mu kifo kyamwenda ku bubonero 45 mu mipiira 31.
Ku Lwokuna, bagenda kudding'ana ne Slavia Praha, omupiira gwe balina okuwangula bwe baba baakwesogga semi za Europa. Mu gwasoose, baalemaganye ggoolo 1-1.