Thursday, April 1, 2021

▶️ Ensi eziise Katongole, Katikkiro, Nakibinge, abanene....

▶️ Ensi eziise Katongole, Katikkiro, Nakibinge, abanene....

AMAANYI n'obukozi bwa Hajji Musa Katongole byalabikidde mu kumusiibula okwabaddeko Katikkiro Charles Peter Mayiga, Omulangira Kassim Nakibinge n'ebikonge ebirala.

Nga Katongole tannaziikibwa e Nakasajja-Mukono, waasooseewo okumusaalira e Kibuli. Abanene baamwogeddeko ng'omusajja owenjawulo, alumiririrwa abalala, omugabi ate wadde abadde mugagga nga yeetoowaza n'assa mu bantu ba wansi ekitiibwa.

Nakibinge: Katongole yalaamira Sheikh Nuhu Muzaata Batte okukulemberamu okumusaalira bw'aliba afudde. Muzaata yamusookayo nga December 4, 2021. Olw'okuba Muzaata takyaliwo, kansabe Sheikh Abdunoor Lunaanoba akulira Bamaseeka okukulemberamu okusaala. Katongole yalina obwesige mu Muzaata era y'omu ku be yali yateresa ekiraamo kye.

Katikkiro Mayiga (ku Kkono) N'omulangira Nakibinge (ku Ddyo).

Hajji Muhammad Katongole Ng'ayogera Eri Abantu Ku Mukulu We.

Supreme Mufti Sheikh Ndirangwa Ng'atuuka E Kibuli.

Nnamwandu Fatuma Katongole Ng'awaniriddwa E Kibuli.

Abakkiriza Nga Basaalira Omulambo Gwa Katongole.

Sheikh Yasin Kiweewa: Muzaata bwe yali atwalibwa mu kasenge k'abayi ku IHK, baamusaba erinnya ly'omuntu w'oku lusegere n'awaayo Katongole.

Katongole eyali ssentebe wa UTODA, yafudde mu kiro ekyakeesezza Olwokubiri. Alese bannamwandu basatu; Hajati Sania Katongole Sserunkuuma abeera e Kanyanya, Hajati Fatuma Katongole ow'e Ntinda ne Hajati Aisha Katongole.

Nakibinge yagambye nti ensonga za Katongole zijja kuba nnyangu okugonjoola kuba yalese ekiraamo. Kyokka Haji Muhammad Katongole, muto w'omugenzi yasabye abalina abaana b'omugenzi abatamanyiddwa okubabatwalira.

Katikkiro Mayiga: Nnasooka okusisinkana Katongole mu 2002. Katikkiro Mulwanyammuli Semwogerere yantuma okumutegeeza nga Kabaka bwe yali alonze eyali omubalirizi w'ebitabo mu UTODA, Florence Nakiwala Kiyingi okufuuka minisita e Mmengo. Abadde muweereza wa Buganda. Ajja kujjukirwanga kubanga n'ebiwandiiko weebiri ebiraga obuweereza bw'azze akola eri Obwakabaka.

OBULWADDE OBWASSE HAJJI KATONGOLE
Muka Katongole ow'e Ntinda, Hajati Fatumah: Katongole yalwala omutima mu 2002 ne bamulongoosa e Buyindi gye yamala emyezi ebiri. Bamujjanjabidde e South Africa ne Germany gye yali mu 2018. Asembye kutwalibwa Thailand gye baali balowooza nti bagenda kumulongoosa. Kyokka abasawo bwe baamukebera baakizuula ng'emisuwa ebitundu 80 ku 100 tegikyatambuza musaayi. Twamukomyawo nga tetumanyi nti atuuka.

Nakibinge n'agattako: Ate bwe baamukebedde wiiki bbiri eziyise ne bamuzuulamu corona era ye yamusse. Bannange corona waali. Mbakubiriza tugoberere amateeka g'ebyobulamu ng'okuteekako obukookolo n'okunaaba mu ngalo era ekirungi n'okugema gye kuli. Kyokka gwe baba bagemye tolowooza nti olinga ali mu mmotoka etayitamu masasi.

Era mbakubiriza okukola ebiraamo kiyambe okumalawo enkaayana eziyinza okuddirira.
Omuntu alaama afune abantu babiri okuli Sheikh amuwabule mu by'eddiini n'amanyi eby'amateeka g'ensi. Olina okulambulula amannya go n'aga bazadde bo, bakyala bo bonna, abaana, abakubanja ne b'obanja n'abantu be wandyagadde okukulemberamu okukusaalira.

Buli muntu eyaliraanye ku Katongole wiiki bbiri emabega agende yeekebeze corona.
Enkolagana yange (Nakibinge) ne Katongole evudde wala. Katongole abadde tanva ku lusegere. Ne bwe bandaalika okunkuba amasasi yansigala kumpi.

Omukolo gwabaddeko Supreme Mufti Siliman Kasule Ndirangwa, omumyuka wa Supreme Mufti Muhamood Kibaate, omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda, Haji Twaha Kaawaase, minisita omubeezi ow'abakadde Sarah Kanyike. Ababaka ba Palamenti, Muhammad Nsereko (Kampala Central), Ibrahim Ssemujju Nganda (Kira munisipaali) ne Joseph Gonzaga Sewungu (Kalungu West) gattako n'abayimbi.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts