ARSENAL yeegasse ku lukalala lwa ttiimu ennyingi ezitandise okwogereza omuteebi wa Man City, Sergio Aguero. Omuzannyi ono yategeezezza nti waakwabulira ttiimu eno ku nkomerero ya sizoni eno oluvannyuma lw'emyaka 10 ng'agizannyira.
Wabula Arsenal yaakusanga okuvuganya okw'amaanyi olwa ttiimu ennyingi ezirinze okukansa omuzannyi ono. Mikel Arteta anoonya muteebi mulala gw'ayinza okwongera ku Pierre Aubameyang ne Alexandre Lacazette bongere amaanyi mu kulwanira ebikopo.
Mu ttiimu endala ezimwagala kuliko ne ManU, Barcelona, PSG ne Chelsea. Barcelona yategeezezza nti beetaaga omuteebi omulala gwe bayinza okugatta ku Lionel Messi baddemu bateebe ggoolo eziwera oba ayinza okuziba eddibu lya Messi singa agenda.
Munnamawulire w'omu Argentina, Lucas Scagliola yategeezezza nti Arsenal nayo yatuukiridde kitunzi w'omuzannyi ono n'eraga nti emwetaaga. Omuzannyi ono awangulidde Man City ebikopo 10 ng'asinga kujjukirwa mu 2012 bwe yateeba ggoolo y'obuwanguzi bwe baali bawangula QPR ne basitukira mu kikopo kya Premier.
Yaakateebera Man City ggoolo 257 mu mipiira 384 era ye muzannyi wa ttiimu eno asinga ggoolo ennyingi mu byafaayo.