Bya ISMAIL MULANGWA
Ku lwokutaano mu StarTimes Premier League;
Kitara-Bright Stars 10:00
Wakiso Giant-Mbarara City 10:00
KCCA-BUL 10:00
UPDF-Vipers 10:00
LEERO ku Lwokutaano Morley Byekwaso omutendesi wa KCCA omujja eyasikidde Mike Mutebi ali ku kigezo n'omupiira gwe ogusooka ng'adduumira abazannyi be nga battunka ne BUL e Lugogo.
Ku Lwokubiri, Byekwaso yatandise emirimu mu butongole n'okuwa abazannyi notisi empya okwawukana eza Mutebi era n'alabula abazannyi okukola ennyo kuba ttiimu agenda kugironda ng'asinziira ku mutindo era ataakole nnyo si waakulinnya mu kisaawe kye.
KCCA eyagala kwesasuliza BUL kye yagikolera ku kisaawe Kyabazinga Stadium, Bugembe e Jinja nga Febuary bwe yagikuba ggoolo 2-1 era KCCA ekwata kifo kya 4 n'obubonero 27 so nga yo BUL ekwata kya 9 n'obubonero 20.
Mu ngeri y'emu bannantameggwa ba liigi sizoni ewedde aba Vipers bakyalira UPDF e Bombo n'ekigendererwa eky'okuwangula omupiira guno okusula ku ntikko ya liigi.
UPDF gye bakyalira etendekebwa Kefa Kisaala ayagala okwekuumira mu bifo ebitaano ebisooka nga kumpi buli munene akyadde e Bombo avuddewo akaaba.
Express ne Police be balozezza ku bukambwe bwa UPDF e Bombo era Kisaala mugumu nti bagenda kusuuza Vipers obuwanguzi nga ne muluzannya olusooka Vipers yasitaana okumegga UPDF e Kitende bwe yagiwangulira ku ggoolo 1-0 eyateebwa Yunus Sentamu mu ddakiika ye 83.
Batabani ba Douglas Bamweyana aba Wakiso Giants bayigga buwanguzi bw'akusatu mu liigi nga bakyaza Mbarara City e Kyabaggu mu Wakiso.
Wakiso Giants yawangulayo emipiira ebiri gyokka mu luzannya olwasooka okwali BUL ne Mbarara City n'okukola amaliri 10 n'okukubwa emipiira 7.