Thursday, April 1, 2021

Luwalira alabudde ku bigenda mu maaso mu ggwanga

Luwalira alabudde ku bigenda mu maaso mu ggwanga

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA 

OMULABIRIZI w'e Namirembe Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira agambye nti Abakristaayo bajaganya amazuukira ga Kristo omwaka guno nga beebuuza oba wakyaliwo afaayo ku bigenda mu maaso mu maka gaffe, ggwanga, n'ekkanisa.

Agambye nti Uganda yayita mu kiseera ekizibu ennyo gye buvuddeko ng'abantu balonda abakulembeze ku mitendera egy'enjawulo n'abamu bwe bajjukira ebyaliwo batyemuka emitima.

Wabula ne yeebaza Katonda okulaba ng'abayizi basobodde okudda mu masomero ne bakola ebigezo ebibatwala ku mutendera oguddako nga n'abamu bamalirizza ebigezo byabwe mu kiseera kino.

"Temufaayo, mmwe mwenna abayitaawo? Mutunule mulabe oba nga waliwo obuyinike bwonna obwenkana obuyinike bwange obukoleddwa nze, Mukama bw'ambonyaabonyezezza ku lunaku olw'ekiruyi kye." Luwalira abyogedde ng'ajuliza mu Kukungubaga 1:12.

Bino Luwalira abyogeredde mu bubaka bwe obwamazuukira mw'ategeerezza nti ; Nsaba tujjaguze Amazuukira omwaka guno 2021 nga twongera okutunulira n'okwebaza Katonda olw'omuwendo ogwateekebwa mu bulokozi bwaffe.

 Kwali kufaayo kwa Katonda eri omuntu omwonoonyi, ye Katonda agamba nti ndabye okubonabona kwa bantu bange era nzise okubawonya Okuva 3:7. 

 Asabye abakristaayo ne Bannayuganda bonna okufaayo okukola ebituufu newankubadde nga twetooloddwa obutafaayo n'okukola ebitali bituufu era ebya mazima. 

Okujjumbira enteekateeka zonna ezibayamba okutangira okusasaanya ekirwadde kya Corona kubanga awulidde aboogerera eddagala erigema ebisongovu wabula okunaba mu ngalo n'amazzi ne ssabbuuni wamu n'okwewa amabanga tewannabeerawo babiwakanya.

Alabudde abebyokwerinda abatulugunya abantu nti baaatendekebwa kukuuma ddembe, abantu n'ebyabwe.

Alabudde abantu okuva mu lugambo nga bakeera kunyumya ku bigenda mu maaso ng'ebyobufuzi oba endwadde nga Corona kubanga eby'etaago ebirala bikyaliwo.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts