OMULABIRIZI wa West Buganda, Rt. Rev Henry Katumba Tamale ye yakulembeddemu okusinza kwa Paasika mu Lutikko ya Yokaana e Kako mu Masaka n'akungubagira Ssaabasumba.
Yayambiddwaako Rev. Can Gaster Nsereko, Can. Elizabeth Julia Tamale n'abalala.
Bp. Tamale yagambye nti Paasika y'omulundi guno etuukidde wakati mu kukungubagira abadde Ssaabasumba wa Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga n'abattiddwa gattako abatulugunyizibwa mu ngeri ezitali zimu.
Yagambye nti okufa kwa Dr. Lwanga ng'abe Masaka kubakosezza mu biwundu by'okufa kw'Omusumba omuwummuze, John Baptist Kaggwa gwe bakaziika mu bbanga ttono.
Yasabye Katonda okugumya emitima gya buli omu naddala ku lunaku luno olw'Amazuukira okujjukirirwa okubonaabona kwa Yesu Kristo bye yayitamu naye oluvannyuma n'awangula amagombe.
N'agamba nti amazuukira ga Kristo ly'essuubi lya buli muntu anyigirizibwa nti bw'obikwasa Katonda takumalaamu ssuubi ng'enkomerero ya byonna eriyo obuwanguzi.
Bp. Tamale yasabidde Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi nti Mukama amutuuse bulungi ku majaguza ge ag'emyaka 66 era amwongere obuwangaazi ng'alamula bulungi Obuganda nga n'enteekateeka ze zonna ez'okukulaakulanya abantu be zibeemu omukisa.